OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Engeri Ffenna Gye Tuyinza Okwenyigira mu Kulabirira Ebifo We Tusinziza
Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka si bizimbe buzimbe; bifo bya kusinzizaamu ebyaweebwayo eri Yakuwa. Buli omu ku ffe ayinza atya okwenyigira mu kuyonja n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka?
MULABE VIDIYO, OKULABIRIRA EBIZIMBE BYAFFE MWE TUSINZIZA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Lwaki tulina ebifo we tusinziza?
Lwaki Ekizimbe ky’Obwakabaka kisaanidde okuba nga kiyonjo era nga kiri mu mbeera nnungi?
Okwenyigira mu kuyonja n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka kikuganyudde kitya?
Lwaki kikulu okufuba okwewala obubenje, era ekyo kiragiddwa kitya mu vidiyo?
Okuwaayo kwaffe kuweesa kutya Yakuwa ekitiibwa?
OTEEKATEEKA KWENYIGIRAMU OTYA?