LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • lff essomo 55
  • Wagira Ekibiina Kyo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Wagira Ekibiina Kyo
  • Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • YIGA EBISINGAWO
  • MU BUFUNZE
  • LABA EBISINGAWO
  • Twebaza Yakuwa olw’Okwagala Kwe Mwoleka
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • “Okubaako Kye Tuwa Yakuwa”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Ekyo Bayibuli ky’Eyogera ku Mirimu ne Ssente
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Lwaki Tuwa Oyo Alina Buli Kimu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
Laba Ebirara
Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
lff essomo 55
Essomo 55. Ab’oluganda ne bannyinaffe nga bayonja Ekizimbe ky’Obwakabaka.

ESSOMO 55

Wagira Ekibiina Kyo

Mu Kyapa
Mu Kyapa
Mu Kyapa

Okwetooloola ensi, abantu bukadde na bukadde basinza Yakuwa, era bakuŋŋaanira mu bibiina nkumi na nkumi. Basiima nnyo obulagirizi n’okuyigirizibwa bye bafuna, era bawagira ebibiina byabwe mu ngeri nnyingi. Naawe oyagala nnyo okuwagira ekibiina kyo?

1. Oyinza otya okukozesa ebiseera byo n’amaanyi go okuwagira ekibiina kyo?

Ffenna tusobola okubaako kye tukola okuwagira ebibiina bye tulimu. Ng’ekyokulabirako, mu kibiina kyo mulimu abakaddiye oba abaliko obulemu? Osobola okubatwalako mu nkuŋŋaana? Oba osobola okubayambako mu ngeri endala, gamba ng’okubayambako okugula ebintu oba okubakolerako ku mirimu gy’awaka? (Soma Yakobo 1:27.) Ate era tusobola okuyambako mu kuyonja n’okuddaabiriza ekizimbe kyaffe eky’Obwakabaka. Tewali atuwaliriza kukola bintu ebyo. Okwagala kwe tulina eri Katonda n’eri bakkiriza bannaffe kwe kutuleetera ‘okwewaayo kyeyagalire.’​—Zabbuli 110:3.

Waliwo engeri endala Abajulirwa ba Yakuwa ababatize gye bayinza okuyambamu ekibiina kyabwe. Ab’oluganda abatuukiriza ebisaanyizo basobola okulondebwa okuweereza ng’abaweereza mu kibiina, era oluvannyuma lw’ekiseera bayinza okulondebwa okuweereza ng’abakadde. Ab’oluganda ne bannyinaffe basobola okuwagira omulimu gw’okubuulira nga baweereza nga bapayoniya. Abalala basobola okuyambako mu kuzimba ebizimbe mwe tusinziza oba okugenda mu kibiina ekirala ekyetaaga okuyambibwa mu ngeri ezitali zimu.

2. Tuyinza tutya okukozesa ebintu byaffe okuwagira ekibiina?

Tusobola ‘okussaamu Yakuwa ekitiibwa nga tumuwa ku bintu byaffe eby’omuwendo.’ (Engero 3:9) Tugitwala nga nkizo okuwaayo ssente n’ebintu ebirala okukola ku byetaago by’ekibiina kyaffe, n’okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. (Soma 2 Abakkolinso 9:7.) Ebyo bye tuwaayo biyambako ne mu kudduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga. Bangi balina enkola ‘ey’okubaako kye baterekawo’ okusobola okubaako kye bawaayo. (Soma 1 Abakkolinso 16:2.) Tusobola okubaako kye tuwaayo nga tuteeka ssente mu busanduuko obubeera mu bifo gye tukuŋŋaanira, oba nga tuyitira ku mukutu donate.jw.org. Yakuwa atuwa akakisa okulaga nti tumwagala okuyitira mu ngeri gye tusalawo okukozesaamu ebintu byaffe.

YIGA EBISINGAWO

Laba engeri gy’oyinza okuwagiramu ekibiina kyo.

3. Tusobola okukozesa ebyo bye tulina okuwagira ekibiina

Yakuwa ne Yesu baagala nnyo omuntu agaba n’essanyu. Ng’ekyokulabirako, Yesu yasiima nnamwandu eyawaayo obusente obutono bwe yalina. Soma Lukka 21:1-4, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Ebyo bye tuwaayo birina kuba bingi nnyo okusobola okusanyusa Yakuwa?

  • Yakuwa ne Yesu bawulira batya nga tuwaddeyo okuva ku ntobo y’omutima gwaffe?

Okusobola okumanya engeri ssente ze tuwaayo gye zikozesebwamu, laba VIDIYO. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

VIDIYO: ‘Okubaako Kye Tuwa Yakuwa’ (4:47)

  • Ebyo bye tuwaayo bikozesebwa bitya okusobola okuganyula ebibiina mu nsi yonna?

Mwanyinaffe omukadde ng’ateeka ssente mu kasanduuko.

4. Tusobola okuyambako mu mirimu egitali gimu

Mu biseera eby’edda, abantu ba Yakuwa baafubanga okulabirira ebifo bye baasinzizangamu. Soma 2 Ebyomumirembe 34:9-11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Buli Muyisirayiri yayambangako atya mu kulabirira ekifo eky’okusinzizaamu Yakuwa?

Okumanya engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakoppamu Abayisirayiri abo, laba VIDIYO. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

VIDIYO: Okulabirira Ebizimbe Byaffe Mwe Tusinziza (3:31)

Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Okulabirira Ebizimbe Byaffe mwe Tusinziza.’ Abasajja, abakazi, n’abaana, nga bayonja munda mu Kizimbe ky’Obwakabaka.
  • Lwaki kikulu okuyonja ekizimbe kyaffe eky’Obwakabaka n’okukikuuma nga kiri mu mbeera nnungi?

  • Oyinza otya okuyambako mu kuyonja n’okukuuma Ekizimbe ky’Obwakabaka nga kiri mu mbeera nnungi?

Abajulirwa ba Yakuwa bannakyewa nga bazimba Ekizimbe ky’Obwakabaka.

5. Ab’oluganda basobola okuluubirira enkizo ezitali zimu mu kibiina

Ebyawandiikibwa bikubiriza abasajja Abakristaayo okufuba okutuukiriza ebisaanyizo basobole okubaako obuvunaanyizibwa obulala bwe baweebwa mu kibiina. Okuwaayo ekyokulabirako, laba VIDIYO. Oluvannyuma ddamu ekibuuzo kino wammanga.

VIDIYO: Ab’Oluganda​—Muluubirire Okuweereza Abalala (5:19)

  • Mu vidiyo eyo, biki Ryan bye yakola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okuweebwa obuvunaanyizibwa obulala mu kibiina?

Bayibuli eraga ebisaanyizo ab’oluganda abaagala okuweereza ng’abaweereza mu kibiina oba ng’abakadde bye balina okutuukiriza. Soma 1 Timoseewo 3:1-13, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Bisaanyizo ki ow’oluganda by’alina okutuukiriza okusobola okuba omuweereza mu kibiina oba omukadde?

  • Bw’aba alina amaka, amaka ge gasuubirwa kuba gatya?​—Laba olunyiriri 4 ne 11.

  • Ab’oluganda bwe bafuba okutuukiriza ebisaanyizo ebyo, buli omu mu kibiina aganyulwa atya?

Ow’oluganda omuvubuka asindika akagaali okuli ow’oluganda akaddiye nga babuulira nnyumba ku nnyumba.

OMUNTU AYINZA OKUKUBUUZA NTI: “Abajulirwa ba Yakuwa baggya wa ssente ezikozesebwa mu mulimu gwabwe?”

  • Oyinza kuddamu otya?

MU BUFUNZE

Yakuwa asiima nnyo bwe tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe okuwagira ekibiina.

Okwejjukanya

  • Tuyinza tutya okukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okuwagira ekibiina?

  • Tuyinza tutya okukozesa ebintu byaffe okuwagira ekibiina?

  • Biki by’oyinza okukola okusobola okuwagira ekibiina?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba ensonga lwaki Katonda takyetaagisa baweereza be kuwaayo kimu kya kkumi.

“Bayibuli Eyogera Ki ku Kuwaayo Ekimu eky’Ekkumi?” (Kiri ku mukutu)

Laba kye kitegeeza ‘okuluubirira enkizo’ mu kibiina.

Okutegeera Enteekateeka y’Obukulembeze mu Kibiina (Omunaala gw’Omukuumi, Febwali 2021)

Laba abaweereza ba Yakuwa abafuba ennyo okusobola okutuusa ku bakkiriza bannaabwe ebitabo.

Okutuusa Ebitabo mu Bitundu Ebitali Bimu mu Congo (4:25)

Laba engeri omulimu gwaffe gye guwagirwamu mu by’ensimbi, era ng’eyawukana nnyo ku y’amadiini amalala.

“Abajulirwa ba Yakuwa Baggya wa Ssente ze Bakozesa mu Mulimu Gwabwe ogw’Okubuulira?” (Kiri ku mukutu)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza