LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb17 Jjuuni lup. 2
  • Okukkiriza kw’Olina mu Bisuubizo bya Yakuwa Kunywevu Kwenkana Wa?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okukkiriza kw’Olina mu Bisuubizo bya Yakuwa Kunywevu Kwenkana Wa?
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Laba Ebirala
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoswa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Yakolera ku Biragiro Ebyali Birabika ng’Ebitakola
    Yoleka Obuvumu ng’Oweereza Katonda
  • Ekigambo kya Yakuwa Tekiremererwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Enjuba Esigala mu Kifo
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Jjuuni lup. 2

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okukkiriza kw’Olina mu Bisuubizo bya Yakuwa Kunywevu Kwenkana Wa?

Yoswa ne Sulemaani bombi baagamba nti tewali kisuubizo na kimu ku ebyo byonna Yakuwa bye yasuubiza ekitaatuukirira. (Yos 23:14; 1Sk 8:56) Ekyo kyongera okunyweza okukkiriza kwe tulina mu busuubizo bya Yakuwa.​—2Ko 13:1; Tit 1:2.

Yakuwa yatuukiriza atya ebisuubizo bye mu kiseera kya Yoswa? Nga muli awaka, mulabe vidiyo erina omutwe ogugamba nti, ‘Tewali Kigambo na Kimu Ekitatuukiridde.’ Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino ebinaakubaganyizibwako ebirowoozo mu kibiina: (1) Tuyinza tutya okukoppa Lakabu? (Beb 11:31; Yak 2:24-26) (2) Ekyatuuka ku Akani kiraga kitya nti okujeemera Yakuwa kivaamu emitawaana? (3) Wadde ng’abasajja b’e Gibiyoni baali balwanyi ba maanyi, lwaki baalimba Yoswa ne bakola endagaano ey’emirembe n’Abayisirayiri? (4) Ekigambo kya Yakuwa kyatuukirira kitya bakabaka abataano Abaamoli bwe bajja okulwanyisa Abayisirayiri? (Yos 10:5-14) (5) Yakuwa akuyambye atya bw’ofubye okukulembeza Obwakabaka n’obutuukirivu bwe?​—Mat 6:33.

Bwe tufumiitiriza ku bintu Yakuwa by’akoze, by’akola kati, ne by’ajja okukola, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera.​—Bar 8:31, 32.

Yoswa

Olina okukkiriza ng’okwa Yoswa?

EBIBUUZO EBY’OKUFUMIITIRIZAAKO:

  • Bunnabbi ki obuli mu Bayibuli bw’olaba nga butuukirira mu kiseera kino?

  • Bunnabbi ki bwe weesunga okulaba nga butuukirira?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza