LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w05 4/1/05 lup. 29-32
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoswa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoswa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • NGA BALI MU “LUSENYI LW’E YERIKO”
  • (Yoswa 1:1–5:15)
  • BEEYONGERA OKUWANGULA
  • (Yoswa 6:1–12:24)
  • YOSWA ATUUKIRIZA OBUVUNAANYIZIBWA BWE OBW’AMAANYI OBUSEMBAYO
  • (Yoswa 13:1–24:33)
  • ‘Tewali na Kimu Kitatuukiridde’
  • Yakolera ku Biragiro Ebyali Birabika ng’Ebitakola
    Yoleka Obuvumu ng’Oweereza Katonda
  • Ebirimu
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • Enjuba Esigala mu Kifo
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 4/1/05 lup. 29-32

Ekigambo kya Yakuwa Kiramu

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoswa

NGA basiisidde mu Nsenyi za Mowaabu mu 1473 B.C.E., Abaisiraeri bateekwa okuba basanyusa nnyo okuwulira ebigambo bino nti: “Mweteekereteekere emmere; kubanga ennaku essatu nga tezinnayita mugenda okusomoka omugga guno Yoludaani, okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wammwe gy’abawa okugirya.” (Yoswa 1:11) Emyaka 40 gye bamaze mu ddungu ginaatera okuggwaako.

Oluvannyuma lw’emyaka egisukka mu 20, nga batuuse mu Kanani, Yoswa omukulembeze waabwe ategeeza abakadde ba Isiraeri nti: “Laba, mbagabidde amawanga gano agasigalawo, okuba obusika obw’ebika byammwe, okuva ku Yoludaani, awamu n’amawanga gonna ge nnazikiriza, okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw’ebugwanjuba. Ne Mukama Katonda wammwe ye alibasindika emberi yammwe n’abagoba mu maaso gammwe; nammwe mulirya ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabagamba.”—Yoswa 23:4, 5.

Ekitabo kino Yoswa yakiwandiika awo mu mwaka 1450 B.C.E., era kyogera ku bintu ebibuguumiriza ebyaliwo mu myaka 22. Nga tunaatera okuyingira mu nsi empya, embeera yaffe efaananako n’eyo Abaisiraeri gye baalimu nga banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize. Nga twesunga okumanya ebyaliwo, ka twetegereze ebiri mu kitabo kya Yoswa.—Abaebbulaniya 4:12.

NGA BALI MU “LUSENYI LW’E YERIKO”

(Yoswa 1:1–5:15)

Nga Yoswa afuna obuvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo Yakuwa bw’amugamba nti: “Musa omuweereza wange, afudde; kale kaakano golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe n’abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri”! (Yoswa 1:2) Yoswa y’alina obuvunaanyizibwa obw’okukulembera obukadde n’obukadde bw’abantu okubatuusa mu Nsi Ensuubize. Nga yeeteekateeka, atuma abakessi babiri mu Yeriko—ekibuga kye balina okusooka okuwamba. Mu kibuga ekyo eriyo omukazi omwenzi ayitibwa Lakabu, eyali awuliddeko ku bikolwa eby’ekitalo Yakuwa bye yakolera abantu be. Omukazi oyo akweka abakessi abo era nabo bamusuubiza okumuwonyaawo.

Abakessi bwe bakomawo, Yoswa n’abantu beeteekateeka okwongerayo olugendo lwabwe, n’okusomoka Yoludaani. Wadde ng’omugga gwanjadde, tekibalemesa kusomoka, kubanga Yakuwa ayimiriza amazzi ne geekuma wamu n’ago agaserengeta mu Nnyanja ey’Omunnyo ne gaggwerera. Bwe bamala okusomoka Yoludaani, Abaisiraeri bawummulamu e Girugaali, okuliraana Yeriko. Nga wayiseewo ennaku 4, mu kawungeezi k’olunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi gwa Abibu, bakwata okuyitako mu lusenyi lw’e Yeriko. (Yoswa 5:10) Ku lunaku oluddirira, batandika okulya emmere y’omu nsi eyo, era emmaanu erekera awo okutonnya. Mu kiseera ekyo, Yoswa akomola abasajja bonna abaazaalibwa mu ddungu.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

2:4, 5​—Lwaki Lakabu alimba abasajja ba kabaka abanoonya abakessi? Lakabu ateeka obulamu bwe mu kabi ng’akweka abakessi kubanga kati akkiririza mu Yakuwa. N’olwekyo, tavunaanyizibwa kubuulira basajja ba kabaka abaagala okutta abantu ba Katonda amayitire g’abakessi abo. (Matayo 7:6; 21:23-27; Yokaana 7:3-10) Amazima gali nti, Lakabu ‘yaweebwa obutuukirivu lwa bikolwa,’ nga mw’otwalidde n’okulimba abasajja ba kabaka.—Yakobo 2:24-26.

5:14, 15​—‘Omukulu w’eggye lya Yakuwa’ y’ani? Omukulu w’eggye ono azzaamu Yoswa amaanyi nga baakatandika okuwangula Ensi Ensuubize, alabika ye “Kigambo,” kwe kugamba, Yesu Kristo nga tanajja ku nsi ng’omuntu. (Yokaana 1:1; Danyeri 10:13) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okumanya nti Yesu Kristo agulumiziddwa ali wamu n’abantu ba Katonda leero, nga balwana olutalo lwabwe olw’eby’omwoyo!

Bye Tuyigamu:

1:7-9. Okusoma Baibuli obutayosa, okufumiitiriza ku ebyo ebigirimu, n’okussa mu nkola bye tusoma, bikulu nnyo bwe tuba ab’okutuuka ku biruubirirwa byaffe eby’omwoyo.

1:11. Yoswa agamba abantu okweteekerateekera emmere n’ebyetaago ebirala mu kifo ky’okudda awo ne balindirira Katonda abibawe. Okubuulirira kwa Yesu nti tetulina kweraliikirira byetaago bya bulamu, n’ekisuubizo kye nti “ebyo byonna mulibyongerwako” tekitegeeza nti tetulina kubaako kye tukola okwetuusaako ebyetaago.—Matayo 6:25, 33.

2:4-13. Oluvannyuma lw’okuwulira ebimu ku ebyo Yakuwa by’akoledde abantu be era n’okumanya nti ekiseera ekyo kya kazigizigi, Lakabu asalawo okudda ku ludda lw’abaweereza ba Yakuwa. Bw’oba omaze ekiseera kiwanvu ng’oyiga Baibuli era n’okitegeera nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma,” tewandisazeewo kuweereza Katonda?—2 Timoseewo 3:1.

3:15. Olw’okuba abakessi abatumibwa mu Yeriko baleeta alipoota ezzaamu amaanyi, Yoswa akolerawo nga talinze na mazzi ga Yoludaani kukalira. Bwe kituuka ku kusinza okw’amazima, tulina okukola n’obuvumu mu kifo ky’okulinda embeera esooke kulongooka.

4:4-8, 20-24. Amayinja 12 agalondebwa wakati mu Yoludaani ga kukola ng’ekijjukizo eri Abaisiraeri. Engeri Yakuwa gy’anunulamu abantu be leero okuva mu mukono gw’abalabe be etujjukiza nti ali wamu nabo.

BEEYONGERA OKUWANGULA

(Yoswa 6:1–12:24)

Yeriko ‘kiggaliddwawo ddala, nga tewali afuluma wadde ayingira.’ (Yoswa 6:1) Kati olwo, ekibuga kyandiwambiddwa kitya? Yakuwa awa Yoswa amagezi ku ngeri y’okukikolamu. Wayita mbale, ng’ebisenge biri ku ttaka era n’ekibuga ne kizikirizibwa. Lakabu n’ab’omu maka ge be bokka abawonawo.

Ekibuga kye baddako okulumba ye Ayi. Abakessi abatumibwa mu kibuga ekyo bakomyawo alipoota egamba nti, ekibuga kirimu abantu batono era nti tekyetaagisa baserikale bangi okukiwamba. Kyokka, abaserikale 3,000 abatumibwa okulumba ekibuga ekyo badduka abasajja b’omu Ayi. Lwaki? Kubanga Yakuwa tali wamu n’Abaisiraeri. Akani ow’omu kika kya Yuda alina ekibi kye yakola bwe baalumba Yeriko. Ng’amaze okutereeza ensonga, Yoswa addamu okulumba Ayi. Olw’okuba yali awangudde Abaisiraeri omulundi ogwasooka, kati kabaka w’e Ayi mwetegefu okubaŋŋanga. Kyokka, Yoswa akozesa akakodyo akaleetera abasajja b’omu Ayi okulowooza nti bagenda kuwangula, era awamba ekibuga ekyo.

Gibyoni ‘kibuga kinene—nga kisinga Ayi, era abasajja baamu ba maanyi nnyo.’ (Yoswa 10:2) Kyokka, abasajja b’omu Gibyoni bwe bawulira ng’Abaisiraeri bawambye Yeriko ne Ayi, balimbalimba Yoswa ne bakola naye endagaano ey’emirembe. Amawanga agabeetoolodde galaba nga kye bakoze kya bulabe. Bakabaka bataano okuva mu mawanga ago agabeetoolodde beekobaana era ne balumba Abagibyoni. Abaisiraeri balwanirira Abagibyoni era ne bawangula bakabaka abo. Wansi w’obukulembeze bwa Yoswa, Abaisiraeri bazzaako okuwamba ebibuga ebiri mu bukiika ddyo n’ebuvanjuba, era ne bawangula bakabaka ab’omu bukiika kkono abeekobaanye. Bakabaka bonna abaawangulwa ku luuyi olw’ebugwanjuba bwa Yoludaani baali 31.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

10:13​—Ekintu ekyo eky’ekyewuunyo kisoboka kitya? “Waliwo ekirema Mukama” Omutonzi w’eggulu n’ensi? (Olubereberye 18:14) Bw’aba ayagadde, Yakuwa asobola okukyusa mu ngeri ensi gy’etambulamu, enjuba n’omwezi ne birabika ng’ebiri mu kifo ekimu. Oba ayinza obutakyusa mu ntambula ya nsi naye n’asobozesa ekitangaala ekiva ku njuba n’omwezi okusigala nga kyaka. Ka kibe ki kye yakola, “tewali lunaku olwenkana olwo” mu byafaayo by’omuntu.—Yoswa 10:14.

10:13​—Ekitabo kya Yasali kye kiruwa? Ekitabo kino kyogerwako ne mu 2 Samwiri 1:18 awalaga nti kirimu oluyimba oluyitibwa “olw’omutego”—oluyimba olw’ennaku olukwata ku Kabaka Sawulo ne mutabani we Yonasaani. Kirabika ekitabo kino kyalimu ennyimba n’ebitontome eby’ebintu ebyaliwo edda era ng’Abebbulaniya baali bakimanyi bulungi.

Bye Tuyigamu:

6:26; 9: 22, 23. Ekikolimo kya Yoswa nga bazikiriza Yeriko kyatuukirira oluvannyuma lw’emyaka nga 500. (1 Bassekabaka 16:34) Ate, ekikolimo Nuuwa kye yakolimira muzzukulu we Kanani kyatuukirira Abagibyoni bwe baafuuka abaddu. (Olubereberye 9:25, 26) Ekigambo kya Yakuwa bulijjo kituukirira.

7:20-25. Abamu bayinza okugamba nti ekibi Akani kye yakola kyali kitono nnyo era nti tekirina muntu yenna gwe kyakosa. Bayinza okutunuulira okubba obuntu obutonotono n’okumenya amateeka amatono aga Baibuli ng’ebibi ebitali bya maanyi. Naye ffe tulina okuba nga Yoswa nga tuba bamalirivu obuteenyigira mu kikolwa kyonna ekimenya amateeka oba eky’obugwenyufu.

9:15, 26, 27. Bulijjo, tulina okutuukiriza bye tweyama okukola.

YOSWA ATUUKIRIZA OBUVUNAANYIZIBWA BWE OBW’AMAANYI OBUSEMBAYO

(Yoswa 13:1–24:33)

Ng’akunukkiriza emyaka 90, Yoswa atandika okugabanyamu ensi. Nga guno mulimu gwa maanyi nnyo! Ab’ekika kya Lewubeeni, Gaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase baamala dda okufuna obusika bwabwe ebuvanjuba bwa Yoludaani. Kati ebika ebisigadde nabyo biweebwa obusika bwabwe ebugwanjuba nga bakuba obululu.

Weema ey’okusisinkaniramu ezimbibwa e Siiro mu kitundu ky’Abefulayimu. Kalebu afuna ekibuga kya Kebbulooni, ate ye Yoswa afuna Timunasuseera. Abaleevi baweebwa ebibuga 48 nga mw’otwalidde n’ebyo omukaaga eby’okuddukiramu. Nga baddayo mu bitundu bye baasikira ebiri ebuvanjuba bwa Yoludaani, Abalewubeeni, Abagaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase bazimba ekyoto “ekinene.” (Yoswa 22:10) Ebika ebiri ku luuyi olw’ebugwanjuba bwa Yoludaani bakitwala ng’ekikolwa eky’obwewagguzi era kabula kata wabalukewo olutalo wakati w’enjuyi zombi. Naye oluvannyuma lw’okutegeera ensonga eyabaviirako okuzimba ekyoto, kibayamba obutayiwa musaayi.

Oluvannyuma lw’okubeera e Timunasuseera ebbanga eriwera, Yoswa ayita abakadde, abakulu b’ebika, abalamuzi n’abakungu mu Isiraeri era abakubiriza okuba abavumu n’okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. Oluvannyuma, Yoswa akuŋŋaanya ebika byonna ebya Isiraeri e Sekemu. Nga bali eyo, addamu okubajjukiza engeri Yakuwa gy’azze akolaganamu nabo okuviira ddala mu kiseera kya Ibulayimu era n’addamu okubakubiriza ‘okutya Yakuwa n’okumuweereza mu mazima awatali bukuusa.’ Abantu bonna bamuddamu nti: ‘Yakuwa Katonda waffe tunaamuweerezanga, n’eddoboozi lye tunaaliwuliranga!’ (Yoswa 24:14, 15, 24) Oluvannyuma lw’okukola bino byonna Yoswa afa ng’alina emyaka 110.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

13:1​—Ekyawandiikibwa kino tekikontana ne Yoswa 11:23? Nedda. Okutwala Ensi Ensuubize kyali kizingiramu ebintu bibiri: olutalo olwasiguukulula bakabaka 31 ab’omu Kanani, ekyakomya obufuzi bw’Abakanani, n’entalo z’ebika era n’ez’abantu kinnoomu okusobola okusikira ensi. (Yoswa 17:14-18; 18:3) Wadde Abaisiraeri baalemererwa okugoba Abakanani bonna mu nsi yaabwe, abo abaali basigaddeyo tebaali ba bulabe n’akamu eri Isiraeri. (Yoswa 16:10; 17:12) Yoswa 21:44 lugamba: “Mukama n’abawummuza ennaku zonna.”

24:2​—Kitaawe wa Ibulayimu, Teera, yali musinza wa bifaananyi? Okusooka, Teera teyali musinza wa Yakuwa Katonda. Kirabika yasinzanga katonda ow’omwezi ayitibwa Sini—eyali asinzibwa ennyo mu Uli. Okusinziira ku Bayudaaya, Teera ayinza n’okuba nga yali mukozi wa bifaananyi. Kyokka, Ibulayimu bwe yava mu Uli nga Katonda bwe yali amulagidde, Teera yagenda naye e Kalani.—Olubereberye 11:31.

Bye Tuyigamu:

14:10-13. Wadde ng’alina emyaka 85, Kalebu asaba omulimu omuzibu ennyo ogw’okuzikiriza abantu b’omu Kebbulooni. Ekitundu ekyo kirimu Abanaki—abasajja abawagguufu. Ng’ayambibwako Yakuwa, omusajja ono omulwanyi nnamige atuuka ku buwanguzi era Kebbulooni kifuuka kibuga eky’okuddukiramu. (Yoswa 15:13-19; 21:11-13) Ekyokulabirako kya Kalebu kitukubiriza obuteewala mirimu gya teyokulase egiba emizibu.

22:9-12, 21-33. Tulina okwegendereza ne tutabuusabuusa biruubirirwa by’abalala.

‘Tewali na Kimu Kitatuukiridde’

Ng’akaddiye, Yoswa agamba abasajja abalina obuvunaanyizibwa mu Isiraeri nti: ‘Tewali kigambo kimu kitatuukiridde mu birungi byonna Yakuwa Katonda wammwe bye yaboogerako. Byonna bibatuukiridde.’ (Yoswa 23:14) Ng’ebiri mu kitabo kya Yoswa biraga bulungi ensonga eyo!

Omutume Pawulo yawandiika: “Byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n’okusuubira olw’okugumiikiriza n’olw’okusanyusibwa kw’ebyawandiikibwa.” (Abaruumi 15:4) Tusobola okuba abakakafu nti essuubi lyaffe mu bisuubizo bya Katonda si lya bwereere. Tewali na kimu kitajja kutuukirira: byonna bijja kutuukirira.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Omanyi ensonga lwaki Lakabu omwenzi yayitibwa omutuukirivu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Ekikolwa kya Akani eky’okubba tekyali kintu kitono—kyaviirako emitawaana egy’amaanyi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

‘Olw’okukkiriza bbugwe wa Yeriko yagwa.’—Abebbulaniya 11:30

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza