EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YEREMIYA 49-50
Abawombeefu Yakuwa Abawa Emikisa, Naye ab’Amalala Ababonereza
Abayisirayiri abandyenenyezza bandisanyuse nnyo nga Yakuwa abaggye mu buwaŋŋanguse
Bandizzeemu okukola naye endagaano ne baddayo mu Yerusaalemi okuzzaawo okusinza okw’amazima
Abababulooni bandibonerezeddwa olw’okubonyaabonya abantu ba Yakuwa
Nga bwe kyalagulwa, Babulooni kyafuuka matongo era abantu tebaddamu kukibeeramu