EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ISAAYA 24-28
Yakuwa Alabirira Abantu Be
Okufaananako omuntu agabula abagenyi be, Yakuwa atuwa emmere nnyingi ey’eby’omwoyo.
“Yakuwa ow’eggye aliteekerateekera amawanga gonna ekijjulo”
Mu biseera eby’edda, abantu bwe baaliranga awamu ekijjulo kyalaganga nti ba mukwano era nti balina enkolagana ennungi
“Eky’ebya ssava ebijjudde obusomyo, eky’omwenge omulungi, ogusengejjeddwa”
Ekijjulo eky’ebya ssava n’omwenge ogusengejjeddwa bikiikirira emmere ennungi ennyo ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa