Jjanwali 2-8
ISAAYA 24-28
Oluyimba 12 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yakuwa Alabirira Abantu Be”: (Ddak. 10)
Is 25:4, 5—Yakuwa kiddukiro eri abo bonna abaagala okumuweereza (ip-1-E 272 ¶5)
Is 25:6—Yakuwa awa abantu be emmere nnyingi ey’eby’omwoyo nga bwe yasuubiza (w16.05 24 ¶4; ip-1-E 273 ¶6-7)
Is 25:7, 8—Ekibi n’okufa binaatera okuggibwawo (w14 9/15 26 ¶15; ip-1-E 273-274 ¶8-9)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Is 26:15—Kiki kye tuyinza okukola okuyambako nga Yakuwa ayongera okugaziya “ensalo zonna ez’ensi”? (w15 7/15 11 ¶18)
Is 26:20—‘Ebisenge eby’omunda’ biyinza kuba nga bikiikirira ki? (w13 3/15 23 ¶15-16)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Is 28:1-13
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo eziraga Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa, era oluvannyuma lwa buli vidiyo, mukubaganye ebirowoozo. Mu mwezi gwa Jjanwali, ababuulizi bwe basanga omuntu ayagala okumanya obanga ddala Katonda gyali era ng’atufaako, bayinza okumuwa brocuwa erina omutwe ogugamba nti, Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 15) Oba oyinza okusalawo okwogera ku by’okuyiga ebiri mu katabo Yearbook. (yb16-E 140-142)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv ebyongerezeddwako ku lup. 212-215
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 34 n’Okusaba