LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb16 Jjanwali lup. 4
  • Jjanwali 11-17

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Jjanwali 11-17
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Jjanwali lup. 4

Jjanwali 11-17

2 EBYOMUMIREMBE 33-36

  • Oluyimba 35 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • “Yakuwa Ayagala Omuntu Eyeenenya mu Bwesimbu”: (Ddak. 10)

    • 2By 33:2-9, 12-16​—Manase yalagibwa ekisa, kubanga yeenenya mu bwesimbu (w06 1/1 17 ¶5)

    • 2By 34:18, 30, 33​—Okusoma Bayibuli n’okugifumiitirizaako kituganyula nnyo (w06 1/1 17 ¶10)

    • 2By 36:15-17​—Tetusaanidde kulowooza nti ekisa kya Yakuwa n’obugumiikiriza bwe tebiriiko kkomo (w06 1/1 17 ¶7)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • 2By 33:11​—Manase bwe yatwalibwa e Babulooni, bunnabbi ki obwatuukirizibwa? (it-1-E 62 ¶2)

    • 2By 34:1-3​—Kiki kye tuyigira ku Kabaka Yosiya? (w06 1/1 17 ¶6)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?

    • Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?

  • Okusoma Bayibuli: 2By 34:22-33 (Ddak. 4 oba obutawera)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi agaba magazini empya ey’Omunaala gw’Omukuumi ng’akozesa omutwe oguli kungulu. Alekawo kye banaayogerako ng’azzeeyo.

  • Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi azzeeyo eri omuntu gwe yabuulira ng’akozesa magazini empya ey’Omunaala gw’Omukuumi. Alekawo kye banaayogerako ng’azzeeyo.

  • Ng’Otandise Okuyigiriza Omuntu: (Ddak. 6 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi atandise okuyigiriza omuntu Bayibuli. Akozesa bh 9-10 ¶6-7.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 77

  • Kikulu Nnyo Okwenenya: (Ddak. 10) Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde. (w06 12/1 14 ¶7-9)

  • Sonyiwanga: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Musseeko vidiyo erina omutwe, Beera Mukwano gwa Yakuwa​—Sonyiwanga. (Genda ku jw.org/lg, mu EBITABO > VIDIYO.) Oluvannyuma, saba abaana boogere ku ebyo bye bayize.

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: ia sul. 6 ¶15-23, akasanduuko “Essaala Ebbiri Ennungi Ennyo,” n’ebyokulowoozaako eby’essuula eyo (Ddak. 30)

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 6 n’Okusaba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza