LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb16 Jjanwali lup. 2
  • Tulina Enkizo ey’Okuzimba n’Okulabirira Ebifo Mwe Tusinziza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Tulina Enkizo ey’Okuzimba n’Okulabirira Ebifo Mwe Tusinziza
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • TUSOBOLA OKWENYIGIRAMU NGA . . .
  • Kino Kye Kifo Mwe Tusinziza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ebifo Mwe Tusinziza
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Tulabirire Bulungi Ekifo Kyaffe eky’Okusinzizaamu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Ekizimbe ky’Obwakabaka Tusaanidde Kukirabirira Tutya?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Jjanwali lup. 2

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Tulina Enkizo ey’Okuzimba n’Okulabirira Ebifo Mwe Tusinziza

Okuzimba yeekaalu kyali kyetaagisa okukola ennyo, ne ssente nnyingi. Wadde kyali kityo, Abayisirayiri baawagira mu bujjuvu enteekateeka y’okuzimba yeekaalu. (1By 29:2-9; 2By 6:7, 8) Yeekaalu bwe yamalirizibwa, okugirabirira oba obutagirabirira, kyasinziiranga ku mbeera y’Abayisirayiri ey’eby’omwoyo. (2Sk 22:3-6; 2By 28:24; 29:3) Leero, Abakristaayo bakozesa ebiseera bingi era bakola n’obunyiikivu okuzimba, okuyonja, n’okulabirira Ebizimbe by’Obwakabaka awamu n’ebizimbe ebituuza enkuŋŋaana ennene. Okukolera awamu ne Yakuwa mu ngeri eno nkizo ya maanyi nnyo, era y’emu ku ngeri gye tumuweerezaamu.​—Zb 127:1; Kub 7:15.

TUSOBOLA OKWENYIGIRAMU NGA . . .

  • Alongoosa w’abadde atudde mu Kingdom Hall

    Tuyonja buli luvannyuma lw’enkuŋŋaana. Embeera yo bw’eba tekusobozesa kuyonja, waakiri leka w’obadde otudde nga wayonjo.

  • Bayonja Kingdom Hall

    Twenyigira mu nteekateeka ey’okuyonjeza awamu ng’ekibiina. Bwe tukolera awamu tuba basanyufu era tetukoowa nnyo.​—lv 92-93 ¶18.

  • Ateeka ssente mu kasanduuko

    Tuwagira mu by’ensimbi. Ne bwe tuwaayo “obusente bubiri obw’omuwendo omutono ennyo,” naye nga tuwaddeyo n’omutima gwaffe gwonna, kisanyusa nnyo Yakuwa.​—Mak 12:41-44.

  • Addaabiriza Kingdom Hall

    Twewaayo nga bannakyewa okuyambako mu kuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka, embeera yaffe bw’eba etusobozesa. Okwenyigiramu tekyetaagisa kuba na bumanyirivu mu kuzimba.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza