Enteekateeka eya Wiiki Etandika Jjuuni 22
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 22
Oluyimba 67 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 26 ¶10-17 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 1 Bassekabaka 1-2 (Ddak. 8)
Na. 1: 1 Bassekabaka 1:15-27 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Ensonga Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Bamativu era Basanyufu—nwt-E lup. 27 ¶1-3 (Ddak. 5)
Na. 3: Lwaki Kikulu Nnyo Okuwonyezebwa mu by’Omwoyo—td-31A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: “Jjukira ennaku ez’edda.”—Ma. 32:7.
Ddak. 7: “Bayite Babeewo.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu akapapula akayita abantu ku lukuŋŋaana.
Ddak. 10: “Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana Olunene olw’Ennaku Essatu.” Kitundu kya kukubaganya birowoozo nga kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Essira lisse ku misingi gya Bayibuli egiweereddwa n’engeri gye tuyinza okugissa mu nkola nga tugenze ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwa 2015. Ate era yogera ku nsonga enkulu eziri mu bbaluwa eyawandiikirwa ebibiina byonna nga Agusito 3, 2013, ekwata ku kwewala obubenje nga tuli mu nkuŋŋaana.
Ddak. 13: Yakwata Atya ku Mukono Gwo? (Is. 41:13) Funayo omubuulizi omu oba babiri mu kibiina kyammwe abaludde mu mazima, obabuuze engeri Yakuwa gy’abayambye okuvvuunuka okusoomoozebwa okutali kumu mu buweereza bwabwe.
Oluyimba 107 n’Okusaba