Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Omunaala gw’Omukuumi Jjuuni 1
“Tubakyaliddeko katono okukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli. Abantu abamu bagamba nti ebyo bannasaayansi bye bazudde biraga nti Bayibuli si ntuufu. Ggwe olowooza otya? Bayibuli yeesigika? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ka nkulageyo ekintu kimu ekiraga nti Bayibuli ntuufu bw’eba eyogera ku bya saayansi. [Soma Yobu 26:7.] Akatabo kano kalaga nti saayansi akwatagana ne Bayibuli.”
Awake! Jjuuni
“Olw’okuba buli omu alwala, tubakyaliddeko okubalaga ekyawandiikibwa kino ekizzaamu amaanyi. [Soma Isaaya 33:24a.] Olowooza obulamu bwaffe buliba butya nga tetukyalwala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okutuusa obunnabbi buno lwe bulituukirira, waliwo ebintu bitaano bye tusobola okukola ne tuba n’obulamu obulungi kati. Akatabo kano koogera ku bintu ebyo.”