Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Noovemba
“Wali weebuuzizzaako ekibuuzo kino? [Soma ekibuuzo ekisooka ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, era omuleke abeeko ky’addamu. Musome obutundu obubiri obuli wansi w’ekibuuzo ekyo era waakiri n’ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa.] Wandyagadde nkomewo olunaku olulala tulabe ensonga lwaki Yesu yazuukiza abantu era n’engeri ekyo gye kitukwatako?”
Omunaala gw’Omukuumi Noovemba 1
“Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki waliwo ebintu ebibi bingi mu nsi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Mu Okubikkulirwa 12:9, Bayibuli etubuulira ensonga lwaki weebiri. [Soma.] Wadde kiri kityo, olunyiriri 12 lutuwa essuubi. [Soma Okubikkulirwa 12:12.] Mu kiseera ekitali kya wala Sitaani ajja kuzikirizibwa. Ekitundu kino ekirina omutwe, ‘Twanditidde Sitaani?’ kiraga engeri gye tusobola okuziyizaamu Sitaani kati era n’ekyo ekinaatera okumutuukako.”
Awake! Noovemba
“Wadde nga buli omu ayagala okuba omusanyufu, bangi leero si basanyufu. Olowooza omuntu ayinza atya okufuna essanyu erya nnamaddala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abantu bangi Bayibuli ebayambye okufuna essanyu mu bulamu. Ng’ekyokulabirako, weetegereze amagezi gano agali mu Bayibuli. [Soma Abebbulaniya 13:5.] Akatabo kano kalaga ebintu bina ebisobola okutuyamba okuba n’obulamu obw’essanyu.”