Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
Kenya: Mu Apuli baatuuka ku ntikko empya eya bapayoniya aba bulijjo 3,091, ey’ababuulizi bonna awamu 26,448, n’ey’abayizi ba Bayibuli 45,496.
Sudan: Waaliwo okweyongerayongera kwa babuulizi 22 ku buli kikumi bw’ogeraageranya n’omwaka oguwedde.
South Sudan: Mu Apuli waaliwo entikko empya. Baagaba obutabo, brocuwa, ne tulakiti 16,077, baabuulira essaawa 30,570, era baakola okuddiŋŋana kwa mirundi 25,494.
Tanzania: Mu Apuli bapayoniya abawagizi baali 1,737, bapayoniya aba bulijjo baali 1,390, era abantu kumpi 31,000 be baayigirizibwa Bayibuli.