Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 5
WIIKI ETANDIKA MAAYI 5
Oluyimba 33 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 6 ¶16-21, akas. ku lup. 65 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Okuva 23-26 (Ddak. 10)
Na. 1: Okuva 25:1-22 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Tewali Kyawandiikibwa Kyonna mu Bayibuli Kiraga Nti Adamu Yakwatanga Ssabbiiti—rs-E lup. 346 ¶4–lup. 347 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Ekibi Kye Ki?—td 8A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Mugabe Magazini mu Maayi. Kukubaganya birowoozo. Sooka olage ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi ng’okozesa ennyanjula eziweereddwa ku lupapula luno. Oluvannyuma, yogera ku nnyanjula zombi. Ng’ofundikira, kubiriza bonna okusoma magazini ezo n’okufuba okuzigaba.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Twakola Tutya? Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere engeri gye baaganyulwa mu kitundu ekyalina omutwe “Okutuukiriza mu Bujjuvu Obuweereza Bwaffe—Okuyambako Oyo gw’Oba Obuulira Naye,” era boogere ku birungi ebyavaamu.
Oluyimba 103 n’Okusaba