LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/14 lup. 7
  • Vidiyo Empya Eneetuyamba Okufuna Abayizi ba Bayibuli

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Vidiyo Empya Eneetuyamba Okufuna Abayizi ba Bayibuli
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Laba Ebirala
  • “Eno Ngeri Mpya ey’Okuyigiriza!”
    Zuukuka!—2016
  • Abajulirwa ba Yakuwa—Bategekeddwa Okubuulira Amawulire Amalungi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyigiriza nga Tukozesa Vidiyo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Vidiyo Eyeetaaga Okufumiitirizaako Ennyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 4/14 lup. 7

Vidiyo Empya Eneetuyamba Okufuna Abayizi ba Bayibuli

Vidiyo empya ey’eddakiika nga ssatu erina omutwe ogugamba nti “Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?” yateekebwa ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti jw.org. Vidiyo eyo yategekebwa okusobola okutuyamba okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Okusobola okugifuna ggula omukutu gwaffe ogende ku mutwe, “Saba Okuyigirizibwa Bayibuli ku Bwereere” oba kozesa code eri ku tulakiti zaffe empya. Ka tulabe engeri gye tusobola okukozesa vidiyo eno empya.

  • Bw’oba ozzeeyo eri oyo eyasiima obubaka bwaffe, mugambe nti: “Nnandyagadde okukulaga vidiyo ya ddakiika ssatu eraga engeri gye tuyinza okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye tutera okwebuuza.” Bw’akkiriza mulage vidiyo eyo ng’okozesa essimu yo oba kompyuta ye.

  • Bw’owa omuntu emu ku tulakiti zaffe empya ng’oli mu buweereza, mulage code eri ku tulakiti eyo era omubuulire engeri y’okugikozesaamu. Okuva bwe kiri nti mu nnimi nnyingi code eyo ekutwala butereevu ku mukutu gwaffe awali vidiyo eyo, oyinza okugimulaga mu kiseera ekyo kyennyini ng’okozesa essimu yo.

  • Buulirako bakozi banno, bayizi banno, ab’eŋŋanda zo, n’abantu abalala ebikwata ku vidiyo eyo era ogibalage. Oba gibasindikire ku e-mail era obakubirize okugiraba.

Bwe tunaakozesa vidiyo eno empya, tujja kufuna abantu bangi be tuyigiriza Bayibuli kitusobozese okuyamba abo abalina ‘endowooza ennuŋŋamu okufuna obulamu obutaggwaawo.’​—Bik. 13:48.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza