Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 3
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 3
Oluyimba 22 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 2, ¶12-20 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Olubereberye 21-24 (Ddak. 10)
Na. 1: Olubereberye 23:1-20 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Yesu Yalabikira Abayigirizwa Be mu Mibiri egy’Ennyama?—rs-E lup. 334 ¶4–lup. 335 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Bayibuli Kitabo Ekirina Okusomebwa Abantu Bonna—td 2C (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Mugabe Magazini mu Febwali. Kukubaganya birowoozo. Sooka kulaga kyakulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi ng’okozesa ennyanjula eziweereddwa ku lupapula luno. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku nnyanjula ezo, ng’osoma sentensi emu emu oba bbiri bbiri, era osabe abawuliriza boogere ku kigendererwa ky’ennyanjula ezo. Bajjukize nti tebalina kukozesa bigambo byennyini ebiri mu nnyanjula ezo, basobola okuzikyusaamu oba okutegeka endala. Fundikira ng’okubiriza bonna okusoma magazini ezo n’okufuba okuzigaba.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Mulibategeerera ku Bibala Byabwe. (Mat. 7:16) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook, aka 2013, olupapula 47, akatundu 1-2; n’olupapula 52, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 53, akatundu 1. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Oluyimba 25 n’Okusaba