Ebirango
◼ Eby’okugaba mu Jjanwali ne Febwali: Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! oba emu ku brocuwa zino wammanga ez’empapula 32: Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Katonda Atwetaagisa Ki?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, Lasting Peace and Happiness—How to Find Them, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, oba The Divine Name That Will Endure Forever. Bwe muba muzzeeyo eri abo abaasiima obubaka bwaffe, musobola okubawa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Musobola n’okubawa brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Maaki ne Apuli: Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!