Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Okitobba 28
WIIKI ETANDIKA OKITOBBA 28
Oluyimba 31 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
jl lup. 3, n’Essomo 1-2 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 1 Timoseewo 1–2 Timoseewo 4 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: “Kiki ky’Onookola mu Biseera eby’Ennaku Enkulu?” Kwogera.
Ddak. 10: Balage Engeri Amawulire Amalungi Gye Gabaganyulamu. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 159. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza nga mukozesa ekintu ekisikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe.
Ddak. 15: Obukulu bw’Okukuuma Ebiseera. Kukubaganya birowoozo. (1) Yakuwa atuteerawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kukuuma ebiseera? (Kaab. 2:3) (2) Bwe tutuukira mu budde mu nkuŋŋaana z’ekibiina oba mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira kiraga kitya nti tussa mu Yakuwa ekitiibwa era nti tufaayo ku balala? (3) Bwe tutuuka ekikeerezi ku lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira, kikosa kitya ekibinja kyaffe eky’obuweereza n’ow’oluganda akubiriza olukuŋŋaana olwo? (4) Singa oyo asiimye obubaka bwaffe oba omuyizi wa Bayibuli tumubuulira essaawa ze tujja okuddayo okumukyalira, lwaki kiba kirungi okukuuma ebiseera? (Mat. 5:37) (5) Biki bye tusaanidde okukola okusobola okukuuma ebiseera eby’olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira n’eby’enkuŋŋaana z’ekibiina?
Oluyimba 69 n’Okusaba