LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/13 lup. 4
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Nsibuko y’Olunaku lwa Halloween?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 8/13 lup. 4

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Ssebutemba

“Nkulamusizza ssebo [oba nnyabo]. Tuzze okubabuulirako ekiyinza okuyamba abafumbo okufuna essanyu. Olowooza kiki ekisinga okulemesa obufumbo okubaamu essanyu?” [Muleke abeeko ky’addamu.] Mulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekisooka, era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.

Omunaala gw’Omukuumi Ssebutemba 1

“Abantu bangi mu kitundu kyaffe beebuuza ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona. Ekyo naawe wali okyebuuzizzaako? [Muleke abeeko ky’addamu.] Eky’essanyu, Bayibuli esuubiza nti ekiseera kinaatera okutuuka okubonaabona kuggweewo. [Soma Okubikkulirwa 21:4.] Akatabo kano kalimu ensonga ttaano lwaki waliwo okubonaabona kungi. Ate era kalaga engeri Katonda gy’agya okuggyawo okubonaabona.”

Awake! Ssebutemba

“Abamu balowooza nti si kibi abantu okwegatta nga tebannafumbiriganwa. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze endowooza ya Katonda ku nsonga eyo. [Soma 1 Abassessaloniika 4:3.] Ekitundu kino kiddamu ebibuuzo bisatu ebikwata ku nsonga eyo.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 4.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza