Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
Uganda: Tuli basanyufu okubategeeza nti twatuuka ku ntikko empya ey’ababuulizi 6,037 mu mwezi gwa Febwali. Okwo kwali kweyongerayongera kwa babuulizi 8 ku buli kikumi bw’ogeraageranya n’omwezi gwe gumu omwaka oguwedde. Awatali kubuusabuusa, abantu ba Yakuwa banyiikivu nnyo mu mulimu gw’okuyigiriza oguwonya obulamu!—1 Tim. 4:16.