LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/13 lup. 4
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 8/13 lup. 4

Ebirango

◼ Eby’okugaba mu Agusito: Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! oba emu ku brocuwa zino wammanga: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Katonda Atwetaagisa Ki?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, The Divine Name That Will Endure Forever, oba brocuwa yonna ey’empapula 32. Ssebutemba ne Okitobba: Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Noovemba: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? oba tulakiti zino wammanga: Ddala Ani Afuga Ensi!, Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma!, oba Wandyagadde Okumanya Amazima?

◼ Okutandika ne wiiki etandika nga Okitobba 28, 2013, tujja kusoma brocuwa Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala? mu lukuŋŋaana lw’Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina. Nga tumazeeko brocuwa eyo, tujja kusoma akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa okutandika ne wiiki etandika nga Jjanwali 6, 2014. Ebibiina ebitalina bitabo bino, bisaanidde okubiragiriza nga bukyali.

◼ Okutandika ne Ssebutemba, abalabirizi b’ebitundu bajja kuwa emboozi erina omutwe ogugamba nti, “Amawulire Amalungi . . . eri Buli Ggwanga n’Ekika n’Olulimi.” Mu bitundu emboozi eyo gye yamala okuweebwa, emboozi erina omutwe ogugamba nti, “Engeri Okwagala n’Okukkiriza gye Biwangulamu Ensi,” y’ejja okuweebwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza