Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 2
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 2
Oluyimba 113 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 11, ekibuuzo 1-3 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 1 Abakkolinso 1-9 (Ddak. 10)
Na. 1: 1 Abakkolinso 4:18–5:13 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ekifo ky’Otabeerangamu n’Abantu b’Otasisinkanangako Bwe Bikulabikira nga bye Wali Olabyeko Kiba Kikakasa nti Wabbuluka Okuva mu Bulamu Obulala?—rs-E lup. 317 ¶3–lup. 319 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Biki Ebiyamba Abakristaayo Okusigala nga Basanyufu Wadde nga Balwadde?—Baf. 4:6, 7 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Ssebutamba. Kukubaganya birowoozo. Mu butikitiki 30 oba 60, nnyonnyola ensonga lwaki magazini ezo zijja kusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Oluvannyuma ng’okozesa ekitundu ekikwatagana n’omutwe oguli ku ngulu ku Omunaala gw’Omukuumi, buuza ab’oluganda kibuuzo ki kye muyinza okukozesa nga mugaba magazini eyo. Era babuuze ekyawandiikibwa kye muyinza okusoma. Kola kye kimu ne ku Awake! Era obudde bwe bubaawo funayo ekitundu ekirala kimu mu Omunaala gw’Omukuumi oba Awake! okole kye kimu. Laga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Koppa Ekyokulabirako kya Balunabba. Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere engeri okukoppa ekyokulabirako kya Balunabba gye kiyinza okutuyambamu ng’ababuulizi.
Oluyimba 65 n’Okusaba