Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjuuni 10
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 10
Oluyimba 1 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 2 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ebikolwa 1-4 (Ddak. 10)
Na. 1: Ebikolwa 1:15–2:4 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Birungi Ki Abantu Bye Banaafuna mu Biseera eby’Omu Maaso olw’Ekinunulo?—rs-E lup. 310 ¶1-4 (Ddak. 5)
Na. 3: Lwaki Endowooza y’Abantu Abasinga Obungi Leero Eyinza Okugeraageranyizibwa ku Mpewo ey’Obutwa?—Bef. 2:1, 2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Obukulu bw’Okutunuulira Oyo gw’Oba Obuulira. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 124, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 125, akatundu 4. Mu bufunze, laga ekyokulabirako ng’omubuulizi tatunuulira oyo gw’abuulira. Ddamu ekyokulabirako ekyo nga ku luno omubuulizi atunuulira oyo gw’abuulira.
Ddak. 10: Birungi Ki Ebyava mu Ebyo Bye Twakola? Kitundu kya kukubaganya birowoozo nga kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Babuulire ebirungi ebyava mu ebyo bye mwakola ng’ekibiina mu kiseera ky’Ekijjukizo, era obasiime. Saba abawuliriza boogere ebirungi ebyavaamu bwe baali bagaba obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo oba nga baweereza nga bapayoniya abawagizi.
Ddak. 10: “Otuukagana n’Embeera?” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 74 n’Okusaba