LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/12 lup. 8
  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 6

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 6
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Emitwe emitono
  • WIIKI ETANDIKA AGUSITO 6
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 7/12 lup. 8

Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 6

WIIKI ETANDIKA AGUSITO 6

Oluyimba 5 n’Okusaba

□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:

lr sul. 6 (Ddak. 25)

□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:

Okusoma Bayibuli: Ezeekyeri 24-27 (Ddak. 10)

Na. 1: Ezeekyeri 24:15-27 (Ddak. 4 oba obutawera)

Na. 2: Ntalo za Ngeri Ki Katonda Ze Yakkirizanga Abaisiraeri Okulwana?​—rs-E lup. 271 ¶5–lup. 273 ¶1 (Ddak. 5)

Na. 3: Ezeekyeri 18:20 Kye Lugamba Kikontana n’Ekyo Okuva 20:5 Kye Lugamba? (Ddak. 5)

□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:

Oluyimba 88

Ddak. 5: Ebirango.

Ddak. 10: Weeteeseteese Okuddayo ku Ssomero? Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere ku kusomoozebwa abavubuka Abakristaayo kwe bajja okwolekagana nakwo ku ssomero. Nnyonnyola engeri abazadde gye basobola okukozesaamu ekitabo Index, Young People Ask omuzingo 1 ne 2, n’ebirala nga bali mu kusinza kw’amaka okuteekateeka abaana baabwe okuziyiza ebikemo n’okunnyonnyola ebikwata ku nzikiriza yaabwe. (1 Peet. 3:15) Londa ekitundu kimu oba bibiri okuva mu bitabo ebyo, oyogere ku nsonga eziyinza okubaganyula. Saba abawuliriza boogere engeri gye baawaamu obujulirwa nga bali ku ssomero.

Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.

Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Agusito. Kukubaganya birowoozo. Ng’okozesa obutikitiki 30 oba 60, nnyonnyola ensonga lwaki magazini ezo zijja kusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe. Oluvannyuma, ng’okozesa ebitundu ebisooka mu Watchtower ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, saba abawuliriza boogere ebibuuzo ebisikiriza bye muyinza okubuuza abantu n’ebyawandiikibwa bye muyinza okusoma. Kola kye kimu ne ku bitundu ebisooka mu Awake! ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, era obudde bwe bubaawo, kola kye kimu ne ku kitundu ekirala kimu okuva mu emu ku magazini ezo. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo. Kozesa magazini ze mwasembayo okufuna mu kibiina kyammwe.

Oluyimba 97 n’Okusaba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza