Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjulaayi ne Agusito: Mugabe brocuwa yonna ku zino wammanga ez’empapula 32 ezinaasikiriza abantu mu kitundu kyammwe. A Book for All People, Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwawo—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Katonda Atwetaagisa Ki?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, Lasting Peace and Happiness—How to Find them, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, The Divine Name That Will Endure Forever, ne Was Life Created? Bwe muba muzzeeyo eri abo abaalaga okusiima, mubanjulire akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza oba okusinziira ku bwetaavu bwa buli muntu, musobola okubanjulira brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Ssebutemba ne Okitobba: Watchtower ne Awake! Bwe muba muzzeeyo eri abo abaalaga okusiima, mubanjulire akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza oba okusinziira ku bwetaavu bwa buli muntu, musobola okubanjulira brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli.
◼ Ennyimba ez’ebigambo eziri ku CD ey’okutaano (Sing to Jehovah—Vocal Renditions, Disc 5) zijja kuteekebwa ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti jw.org nga 1, Agusito. Okusooka kujja kuteekebwako ez’Olungereza, oluvannyuma lw’ekiseera kuteekebweko n’ennimi endala. Abo abaagala CD eyo basobola okugiragiriza okuyitira mu kibiina kyabwe. Okuva bwe kiri nti kitwala ssente ntono ddala okuggya ennyimba ezo ku mukutu gwaffe bw’okigeraageranya n’okufulumya CD awamu n’okuzisaabaza, abo abasobola basabibwa okuziggya ku mukutu gwaffe. CD 1-4 zaateekebwako dda, era CD esooka ey’Oluswayiri kweri.