LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/12 lup. 4
  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 30

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 30
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Emitwe emitono
  • WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 30
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 7/12 lup. 4

Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 30

WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 30

Oluyimba 109 n’Okusaba

□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:

lr sul. 5 (Ddak. 25)

□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:

Okusoma Bayibuli: Ezeekyeri 21-23 (Ddak. 10)

Na. 1: Ezeekyeri 23:35-45 (Ddak. 4 oba obutawera)

Na. 2: Okwagala kwa Katonda Kungi Kwenkana Wa?​—Yok. 3:16; Bar. 8:38, 39 (Ddak. 5)

Na. 3: Ebyawandiikibwa Ebiraga Endowooza y’Omukristaayo ku Kwenyigira mu Ntalo.​—rs-E lup. 271 ¶1-4 (Ddak. 5)

□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:

Oluyimba 3

Ddak. 10: Ebirango. Kozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 8 olage ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Agusito. Bwe muba temulina magazini za Agusito, kozesa magazini ze mwasembayo okufuna mu kibiina kyammwe. Kebera mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka akalimu ennyanjula za magazini ezo.

Ddak. 25: “Munoonye Aboogera Olulimi Olukozesebwa mu Kibiina Kyammwe.” Kitundu kya kubuuza bibuuzo na kuddamu nga kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Yogera ku ngeri gye muyinza okukozesa amagezi agali mu kitundu ekyo. Ekibiina kyammwe bwe kiba nga kirina ekibinja ekikozesa olulimi olulala kye muwagira oba bwe kiba nti kibeetaagisa okunoonya aboogera olulimi lwe mukozesa mu kibiina kyammwe, bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 5 laga ekyokulabirako ng’omubuulizi alaga engeri gye muyinza okwogeramu nga munoonya abantu. Ebiri mu kitundu kino bwe biba nga tebituukirawo mu kibiina kyammwe, mukozese ebiri mu katabo Organized to Do Jehovah’s Will, olupapula 102, akatundu 3, okutuuka ku lupapula 104, akatundu 1. Kiggumize nti kikulu nnyo okuwandiika amayumba we mutasanze bantu n’okufuba okuddira abo ababa balaze okusiima.

Oluyimba 92 n’Okusaba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza