LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/12 lup. 3
  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 23

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 23
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Emitwe emitono
  • WIIKI ETANDIKA APULI 23
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 4/12 lup. 3

Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 23

WIIKI ETANDIKA APULI 23

Oluyimba 49 n’Okusaba

□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:

fy sul. 14 ¶20-25, akas. ku lup. 172 (Ddak. 25)

□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:

Okusoma Bayibuli: Yeremiya 29-31 (Ddak. 10)

Na. 1: Yeremiya 31:15-26 (Ddak. 4 oba obutawera)

Na. 2: Katonda Yeetaagisa Abakristaayo Okukwata Ssabbiiti? (Ddak. 5)

Na. 3: Ddala Maliyamu Yali Mbeerera We Yazaalira Yesu?​—rs-E lup. 255 ¶3-4 (Ddak. 5)

□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:

Oluyimba 130

Ddak. 10: Ebirango. Mu ddakiika emu oba bbiri nokolayo ebimu ku bitundu ebiri mu magazini ze mwasembayo okufuna mu kibiina kyammwe ebiyinza okusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Oluvannyuma, ng’okozesa ebitundu ebisooka mu Watchtower ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, saba abawuliriza boogere ebibuuzo ebiyinza okusikiriza abantu n’ebyawandiikibwa bye muyinza okusoma. Kola kye kimu ne ku bitundu ebisooka ebiri mu Awake! ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, era obudde bwe bubaawo, kola kye kimu ne ku kitundu ekirala kimu okuva mu emu ku magazini ezo. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.

Ddak. 15: “Ganyulwa mu Bujjuvu mu Kwesomesa.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Kubiriza bonna okweteerawo ekiseera eky’okwesomesa, okunoonyereza, n’okufumiitiriza.

Ddak. 10: “Bye Musobola Okwogerako mu Kusinza kw’Amaka.” Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitundu ekiri mu kasanduuko akali ku lupapula 28 mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 15, 2010. Mu bufunze buuza ebibuuzo oyo eyali alambuddeko ofiisi y’ettabi bwe muba mumulina.

Oluyimba 119 n’Okusaba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza