Abajulirwa ba Yakuwa Booleka Okukkiriza Kwabwe, Ekitundu 1: Bava mu Kizikiza
Mu Bayibuli, ekitangaala kikwataganyizibwa na mazima, ate ekizikiza kikwataganyizibwa na bulimba. (Zab. 43:3; Is. 5:20) Sitaani yaleeta ekizikiza mu nsi bwe yalimbalimba Kaawa, ekyaviiramu abantu bonna okuba mu kizikiza eky’amaanyi. (Kub. 12:9) Vidiyo eyitibwa Jehovah’s Witnesses—Faith in Action, Part 1: Out of Darkness eraga engeri gye twafunamu ekitangaala eky’eby’omwoyo. (Is. 60:1, 2) Oluvannyuma lw’okulaba vidiyo eno, osobola okuddamu ebibuuzo bino?
(1) Ekizikiza eky’amaanyi kyajjawo kitya oluvannyuma lw’okufa kw’abatume? (2) Okutandika n’emyaka gya 1100, biki ebyaliwo ebyayamba abantu okutegeera nti amakanisa gaali gayigiriza bya bulimba? (3) Henry Grew ne George Storrs baakola ki? (4) Biki ebyaliwo mu bulamu bwa Charles Russell ebyamukwatako ennyo? (5) Ow’oluganda Russell, kitaawe, n’abamu ku mikwano gyabwe baakozesanga nkola ki nga basoma Bayibuli, era oluvannyuma lw’okwekenneenya Ebyawandiikibwa biki bye baasalawo? (6) Kyava ku ki akabinja ako ak’abasomi ba Bayibuli okwegatta ku kabinja ka Nelson Barbour, naye ate kiki ekyaleetera Ow’oluganda Russell okumweyawulako? (7) Kiki ekyaliwo mu Jjulaayi 1879 ekyaleetera ekitangaala eky’eby’omwoyo okweyongera okwaka? (8) Oluvannyuma, kiki Abayizi ba Bayibuli abaali beeyongerayongera kye baakola okusobola okubunyisa amawulire amalungi? (9) Ng’ekyabulayo emyaka mingi, kiki Abayizi ba Bayibuli kye baali basuubira okubaawo mu 1914? (10) Kusomoozebwa ki Abayizi ba Bayibuli kwe baayolekagana nakwo oluvannyuma lw’okufa kw’Ow’oluganda Russell? (11) Abayizi ba Bayibuli baakola ki oluvannyuma lw’Ow’oluganda Rutherford ne banne okuyimbulwa mu kkomera? (12) Okulaba vidiyo eno kikuyambye kitya okwongera okusiima ekibiina kya Yakuwa? (13) Vidiyo eno ekuyambye etya okweyongera okuba omumalirivu okubuulira n’obunyiikivu wadde ng’oziyizibwa? (14) Tuyinza tutya okukozesa vidiyo eno okuyamba ab’eŋŋanda zaffe, abayizi ba Bayibuli, n’abalala?
Ng’Abayizi ba Bayibuli abo baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo! Baali bavumu era nga banyiikivu mu kubunyisa ekitangaala mu nsi ekutte ekizikiza eky’eby’omwoyo. Ka tukoppe ekyokulabirako kyabwe era ‘tutambulenga ng’abaana b’ekitangaala.’—Bef. 5:8.