LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/12 lup. 1
  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 9

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 9
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Emitwe emitono
  • WIIKI ETANDIKA APULI 9
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 4/12 lup. 1

Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 9

WIIKI ETANDIKA APULI 9

Oluyimba 32 n’Okusaba

□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:

fy sul. 14 ¶7-13 (Ddak. 25)

□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:

Okusoma Bayibuli: Yeremiya 22-24 (Ddak. 10)

Na. 1: Yeremiya 23:15-23 (Ddak. 4 oba obutawera)

Na. 2: Ensonga Lwaki Obulamu mu Nsi Empya Tebujja Kututama (Ddak. 5)

Na. 3: Okugoberera Amagezi g’Omu Byawandiikibwa Kisobola Okulongoosa Obufumbo​—rs-E lup. 254 ¶1-4 (Ddak. 5)

□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:

Oluyimba 36

Ddak. 5: Ebirango.

Ddak. 15: Fuba Okusoma Akatabo Yearbook aka 2012. Mu nnyanjula yo, kozesa ebyo ebiri mu kitundu ekiri mu Yearbook ekirina omutwe, “Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi.” Oluvannyuma saba abawuliriza boogere ku bintu ebizzaamu amaanyi ebyakolebwa oba ku byokulabirako ebiri mu kitundu ekirina omutwe, “Ebikulu Ebibadde mu Mwaka Oguwedde.” Ate era basabe boogere ku bintu ebikulu ebiri mu lipoota y’ensi yonna. Fundikira ng’okubiriza bonna okusoma akatabo Yearbook bakamaleko.

Ddak. 15: “Ebintu Bisatu Ebinaakuyamba Okulongoosa mu Ngeri gy’Oyigirizaamu.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, laga ekyokulabirako ng’omubuulizi akubaganya n’omuntu ebirowoozo ku katundu akasooka akali ku lupapula 3 mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Omubuulizi bw’amala okusoma ebigambo ebijuliziddwa mu katundu ako ebiva mu Yobu 10:15, akozesa eddakiika emu oba bbiri okunnyonnyola ebintu ebirala ebikwata ku Yobu. Oluvannyuma, buuza abawuliriza lwaki eyo tebadde ngeri nnungi ey’okuyigiriza wadde ng’ebyo by’ayogedde ebikwata ku Yobu bibadde bituufu.

Oluyimba 10 n’Okusaba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza