Ebintu Bisatu Ebinaakuyamba Okulongoosa mu Ngeri gy’Oyigirizaamu
1. Lwaki twandifubye okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu?
1 Ababuulizi bonna basomesa. Ka kibe nti gwe mulundi gwaffe ogusoose okukyalira omuntu, oba nga tuzzeeyo eri oyo eyalaga okusiima, oba nga tuli n’omuyizi wa Bayibuli, tuba tuyigiriza era ng’ebyo bye tuyigiriza bikulu nnyo. Tuba tuyamba abantu okutegeera “ebyawandiikibwa ebitukuvu” ebisobola okubafuula ‘abagezi ne bafuna obulokozi.’ (2 Tim. 3:15) Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo! Ka twetegereze ebintu bisatu ebinaatuyamba okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu.
2. Tuyinza tutya okuyigiriza mu ngeri ennyangu?
2 Yigiriza mu Ngeri Ennyangu: Bwe tuba tumanyi bulungi ekyo kye tuyigiriza, tuyinza okwerabira nti oyo atakimanyi kiyinza okumuzibuwalira okutegeera amangu. N’olwekyo, bw’oba oyigiriza omuntu Bayibuli, toyogera bintu bingi ebiteetaagisa. Mu kifo ky’ekyo, ggumiza ensonga enkulu. Okwogera ennyo si kwe kuyigiriza obulungi. (Nge. 10:19) Okutwalira awamu, kiba kirungi okusoma ebyawandiikibwa ebyo byokka ebiggyayo ensonga enkulu. Oluvannyuma lw’okusoma ekyawandiikibwa, essira lisse ku bigambo ebyo byokka ebikwatagana n’ensonga gye mwogerako. Ebyo Yesu bye yayigiriza ng’ali ku lusozi ebisangibwa mu Matayo essuula 5 okutuuka ku 7 birimu amazima mangi nnyo, so ng’ate Yesu yayigiriza mu ngeri ennyangu ng’akozesa ebigambo bitono.
3. Muganyulo ki oguli mu kukozesa ebyokulabirako, era bya ngeri ki ebisinga okukola obulungi?
3 Kozesa Ebyokulabirako: Ebyokulabirako bireetera omuntu okulowooza, bikwata ku nneewulira ye era bimuyamba okujjukira. Tosaanidde kulowooza nti olina okuba ng’omanyi okugera engero okusobola okukozesa ebyokulabirako ebirungi. Yesu yakozesanga ebyokulabirako ebimpimpi era ebyangu okutegeera. (Mat. 7:3-5; 18:2-4) Ebifaananyi ebyangu ebikubiddwa ku lupapula nabyo biyinza okuba eby’omuganyulo. Okweteekateeka obulungi kiyinza okukuyamba okufuna ebyokulabirako ebirungi by’osobola okukozesa.
4. Tuyinza tutya okukozesa obulungi ebibuuzo?
4 Kozesa Ebibuuzo: Bw’obuuza omuyizi ekibuuzo kiba kimwetaagisa okusooka okulowooza. N’olwekyo ba mugumiikiriza. Bw’oyanguwa okukyeddiramu, tojja kusobola kumanya ekyo omuyizi wo ky’ategeera ne ky’atategeera. Bw’addamu ekikyamu, kiba kirungi okumuyamba okufuna eky’okuddamu ekituufu ng’omubuuza ebibuuzo ebirala, mu kifo ky’okumutereeza obutereeza. (Mat. 17:24-27) Kyo kituufu nti tewali n’omu ku ffe ayigiriza mu ngeri etuukiridde. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etukubiriza okussaayo omwoyo ku ngeri gye tuyigirizaamu. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kufuna emikisa egy’olubeerera awamu n’abo abatuwuliriza.—1 Tim. 4:16.