Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 9
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 9
Oluyimba 78 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 11 ¶6-11 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Isaaya 29-33 (Ddak. 10)
Na. 1: Isaaya 30:15-26 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Abantu Baatondebwa nga Ba Kubeerawo Ekiseera Kitono n’Oluvannyuma Bafe?—rs-E lup. 245 ¶1–lup. 246 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Abantu Abatatuukiridde Basobola Batya Okutukuza Erinnya lya Yakuwa?—Mat. 6:9 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Buulira Abo Aboogera Ennimi Endala. Kwogera nga kunnyonnyola engeri y’okukozesaamu akatabo Good News for People of All Nations. Laga ekyokulabirako.
Ddak. 10: Obukakafu Obulaga nti Bayibuli Yaluŋŋamizibwa. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 60, akatundu 3, okutuuka ku lupapula 64, akatundu 3.
Ddak. 10: “Kuba Ebikonde Byo mu Ngeri ey’Amagezi.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, mu bufunze, saba omulabirizi w’obuweereza ayogere ekiseera kye muyinza okusangiramu abantu, ennaku, n’ebifo we muyinza okubasanga mu kitundu kyammwe.
Oluyimba 115 n’Okusaba