LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/12 lup. 1
  • Kuba Ebikonde Byo mu Ngeri ey’Amagezi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kuba Ebikonde Byo mu Ngeri ey’Amagezi
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Laba Ebirala
  • Emiganyulo Egiri mu Kuba n’Ekitundu Ekikyo ku Bubwo eky’Okubuuliramu
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Olina Ekitundu ky’Obuuliramu Ekikyo ku Bubwo?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Engeri ez’Enjawulo ez’Okubuuliramu Amawulire Amalungi
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Oli Mwetegefu Okuba Omuvubi w’Abantu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 1/12 lup. 1

Kuba Ebikonde Byo mu Ngeri ey’Amagezi

1. Omusingi oguli mu 1 Abakkolinso 9:26 gutuyamba gutya mu buweereza bwaffe?

1 Omutume Pawulo yagamba nti: “Sidduka ng’atamanyi gye ndaga; ebikonde byange sibikuba ng’akuba ebbanga.” (1 Kol. 9:26) Pawulo yali ategeeza nti ebirowoozo bye byonna yali abitadde ku biruubirirwa bye eby’eby’omwoyo era ng’afuba okubituukako. Kyokka, omusingi oguli mu kyawandiikibwa ekyo gusobola okukola ne mu mulimu gw’okubuulira. Twagala okukuba “ebikonde” byaffe, oba okukozesa amaanyi gaffe mu ngeri ey’amagezi kitusobozese okukola ekisingawo mu buweereza bwaffe. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

2. Tuyinza tutya okukoppa Pawulo n’ababuulizi abalala ab’omu kyasa ekyasooka nga tusalawo ekiseera n’ekifo we tunaabuulira?

2 Genda w’Osobola Okusanga Abantu: Pawulo n’ababuulizi abalala ab’omu kyasa ekyasooka baagendanga we baabanga basuubira okusanga abantu. (Bik. 5:42; 16:13; 17:17) N’olwekyo, bwe kiba nti abantu bangi mu kitundu kye tubuuliramu babeerawo awaka mu kiseera eky’olweggulo, ekyo kye kiyinza okuba ekiseera ekirungi okubuulira nnyumba ku nnyumba. Kyandiba nti abantu bangi batera okubeera ku siteegi z’ebidduka ku makya nga bagenda okukola oba olweggulo nga baddayo eka? Ddi abantu abasinga obungi lwe batera okubeera mu bifo awatundirwa ebintu? Okubuulira ku nguudo kuyinza okuvaamu ebibala mu biseera nga bino.

3. Tusobola tutya okukuba ebikonde byaffe mu ngeri ey’amagezi nga tubuulira mu kitundu kyaffe?

3 Kyetaagisa Okukozesa Amagezi nga Tubuulira mu Kitundu Kyaffe: Ate era tusaanidde okukuba ebikonde byaffe mu ngeri ey’amagezi nga tubuulira mu kitundu kyaffe. Okugeza, mu kifo ky’okutwala ekibinja ekinene mu kitundu kye kimu, ekiyinza okutwala ebiseera ebingi ng’obayamba okubuulira mu ngeri entegeke, kyandibadde kirungi okugabanyamu ekibinja. Mu ngeri y’emu, bwe tuba tubuulira mu bitundu ebyesudde, tujja kusobola okubuulira ekitundu kinene n’okwogera n’abantu abawerako singa tuba mu bibinja ebitonotono. Osobola okufuna ekitundu eky’okubuuliramu ekikyo ku bubwo ekiri okumpi ne w’obeera, kikusobozese okukendeeza ku biseera by’omala ng’ogenda mu kitundu eky’ewala?

4. Kiki ekinaatusobozesa okuba “abavubi b’abantu” abalungi?

4 Ababuulizi b’enjiri Yesu yabayita “abavubi b’abantu.” (Mak. 1:17) Ekigendererwa ky’omuvubi si kutega butezi katimba mu mazzi wabula okukwasa ebyennyanja. N’olwekyo, abavubi abalungi bagenda we basuubira okusanga ebyennyanja era bagendayo mu kiseera ekituufu. Bwe batuukayo, batandikirawo okuvuba awatali kulwa. Bwe kityo, bakozesa amaanyi gaabwe mu ngeri ey’amagezi. Naffe ka twoleke obunyiikivu bwe bumu mu buweereza bwaffe.​—Beb. 6:11.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza