Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 7
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 7
Oluyimba 131 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 9 ¶8-12 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Engero 27-31 (Ddak. 10)
Na. 1: Engero 28:19–29:10 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ebigambo Ebiri mu Abaruumi 8:32 Bitukakasa Bitya nti Ebisuubizo bya Katonda Byonna Bijja Kutuukirira? (Ddak. 5)
Na. 3: Lukka 21:11 Lutuukiriziddwa Lutya Okuva mu 1914?—rs-E lup. 236 ¶1-3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Okuddamu Ebibuuzo Ebikwata ku Kuteekebwamu Omusaayi. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 74, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 76, akatundu 2. Mu bufunze, laga ekyokulabirako nga payoniya abuuzibwa ekimu ku bibuuzo ebiragiddwa ng’abuulira nnyumba ku nnyumba era ng’akozesa akatabo Reasoning okukiddamu.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Yakuwa Tajja Kwabulira Bantu Be. (Zab. 94:14) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo 2011 Yearbook, olupapula 215, akatundu 1-2, n’olupapula 221, akatundu 3, okutuuka ku lupapula 222, akatundu 5. Saba abawuliriza boogere ku ebyo bye bayize.
Oluyimba 110 n’Okusaba