Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Okitobba: Watchtower ne Awake! Abo ababa balaze okusiima mubawe tulakiti, Wandyagadde Okumanya Amazima? era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Noovemba: The Bible—What is its Message? Ebibiina biyinza okusalawo nti brocuwa ez’empapula 32 ezaagabibwa mu Agusito 2011 zigabibwe wamu nayo, oba zigabibwe mu kifo kyayo. Ddesemba: The Greatest Man Who Ever Lived. Mu maka bwe mubeeramu abaana, mugabe Learn From the Great Teacher, oba Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli. Jjanwali: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku mulundi gwe muba musoose okubakyalira. Abantu bwe basangibwa nga bakalina, era nga tebaagala kuyiga naffe Bayibuli, ababuulizi bayinza okubawa emu ku magazini zaffe enkadde oba brocuwa yonna etuukagana n’embeera.