Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjuuni 13
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 13
Oluyimba 45 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 4 ¶15-22, akas. ku lup. 50 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zabbuli 38-44 (Ddak. 10)
Na. 1: Zabbuli 41:1–42:5 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Abantu Be Tuyinza Okukoppa mu Bayibuli Abaalina Omukwano ogw’Oku Lusegere n’Engeri Ennungi (Ddak. 5)
Na. 3: Obunnabbi Obukwata ku Kuzzibwawo kwa Isiraeri Butuukirizibwa ku Baani Leero?—rs-E lup. 224 ¶3–lup. 225 ¶3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Engeri ez’Enjawulo ez’Okubuuliramu Amawulire Amalungi—Okuyigiriza Abayizi ba Bayibuli. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 98, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 99, akatundu 1. Saba ababuulizi boogere ku ssanyu lye bafunye nga bayigiriza abantu amazima era nga balaba engeri gye bakulaakulanamu mu by’omwoyo. Eky’okuddamu kimu oba bibiri biyinza okutegekebwa nga bukyali.
Ddak. 10: Omutindo gw’Ekikristaayo Ogukwata ku Bufumbo, Okugattululwa, n’Okwawukana gwe Guluwa? Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 194-195, ekibuuzo 1-3.
Ddak. 10: “Tusaanidde Okwoleka Obugumiikiriza mu Buweereza Bwaffe.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 103 n’Okusaba