Tusaanidde Okwoleka Obugumiikiriza mu Buweereza Bwaffe
1. Yakuwa ayolese atya obugumiikiriza bwe eri abantu bonna?
1 Yakuwa ayoleka obugumiikiriza ng’akolagana n’abantu. (Kuv. 34:6; Zab. 106:41-45; 2 Peet. 3:9) Ekimu ku bintu ebisinga okwoleka obugumiikiriza bwe gwe mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka ogukolebwa mu nsi yonna. Wadde nga Yakuwa abadde akolagana n’abantu okumala emyaka nga 2,000, akyeyongera okusika abalina emitima emirungi okubaleeta gy’ali. (Yok. 6:44) Obuweereza bwaffe buyinza butya okwoleka obugumiikiriza bwa Yakuwa?
2. Tuyinza tutya okwoleka obugumiikiriza nga tubuulira mu kitundu kyaffe?
2 Okubuulira Nnyumba ku Nnyumba: Tukoppa Yakuwa omugumiikiriza nga tubuulira “awatali kuddirira” mu bitundu omuli abantu abatannaba kusiima bubaka bwaffe. (Bik. 5:42) Tweyongera okubuulira n’obugumiikiriza wadde ng’abantu tebaagala bubaka bwaffe, batusekerera, era nga batuziyiza. (Mak. 13:12, 13) Ate era twoleka obugumiikiriza nga tetukoowa kufukirira ensigo ez’amazima ne bwe kiba nti abantu abaalaga okusiima kizibu okubasanga awaka.
3. Lwaki obugumiikiriza bwetaagisa bwe tuba tuddiŋŋana era nga tuyigiriza abayizi ba Bayibuli?
3 Abayizi ba Bayibuli: Okukuza ekimera kyetaagisa obugumiikiriza. Tusobola okukirabirira, naye tetuyinza kwanguya kukula kwakyo. (Yak. 5:7) Mu ngeri y’emu okukulaakulana mu by’omwoyo kubaawo mpolampola era mu mitendera. (Mak. 4:28) Abo be tuyiga nabo kiyinza obutabanguyira kuleka njigiriza zaabwe ez’obulimba oba obulombolombo obuteesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Tetusaanidde kwanguya kukulaakulana kw’abayizi baffe nga tubawaliriza okukola enkyukakyuka. Kitwetaagisa okuba abagumiikiriza okumala ekiseera kisobozese omwoyo gwa Katonda okuyamba omuyizi okukola enkyukakyuka.—1 Kol. 3:6, 7.
4. Obugumiikiriza buyinza butya okutusobozesa okuwa ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza obujulirwa?
4 Ab’Eŋŋanda Abatali Bakkiriza: Wadde nga twagala nnyo ab’eŋŋanda zaffe bayige amazima, tulaga obugumiikiriza nga tulinda ekiseera ekituufu okwogerako nabo ku bikwata ku nzikiriza zaffe, era nga tuba beegendereza obutababuulira bintu bingi nnyo omulundi gumu. (Mub. 3:1, 7) Nga bwe tulindirira ekiseera ekituufu, ka empisa zaffe ennungi zibawe obujulirwa era ka bulijjo tube beetegefu okubabuulirako ku bikwata ku nzikiriza zaffe mu bukkakkamu era nga tubassaamu ekitiibwa. (1 Peet. 3:1, 15) Awatali kubuusabuusa, bwe twoleka obugumiikiriza mu buweereza bwaffe, bujja kuvaamu ebibala bingi era kijja kusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu.