Ebyatuukibwako mu Buweereza bw’Ennimiro
Kenya: Mu Jjulaayi, ababuulizi 22,975 mu Kenya abaawaayo lipoota zaabwe, baayigiriza abayizi ba Baibuli 40,714 era ng’eno yali ntikko mpya.
Uganda: Mu Jjulaayi, ababuulizi baawagira kaweefube ow’okubuulira mu bitundu ebitatera kukolebwamu. Baamala essaawa 134,297 mu buweereza, baddira abantu abaalaga okusiima emirundi 70,640, era baafuna essanyu mu kuyigiriza abayizi ba Bayibuli 14,155. Zino zonna zaali ntikko mpya mu buweereza bwabwe.