Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Desemba 1
“Okkiriziganya nange nti abazadde abali obwannamunigina balina ebizibu bingi okusinga abazadde abafumbo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli etukubiriza okufaayo ku abo abalina ebizibu. [Soma Zabbuli 41:1.] Ekitundu ekitandikira ku lupapula 22 kinnyonnyola engeri gye tuyinza okufaayo ku bazadde abali obwannamunigina.”
Awake! Desemba
“Bangi beebuuza nti, ‘Katonda bw’aba nga gyali, lwaki taggyawo Omulyolyomi?’ Naawe wali weebuuzizzaako ekibuuzo ekyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino ekiri ku lupapula 10 ne 11 kiwa eky’okuddamu ekiva mu Bayibuli. Era kitutegeeza ensi nga bw’enaabeera Omulyolyomi bw’anaaba aggiddwawo.” Soma Okubikkulirwa 21:3, 4.
The Watchtower Jjanwali 1
“Abantu bangi bakkiriza nti olusuku Adeni telwaliyo. Kyandikwewuunyisizza okukimanya nti Yesu yayogera ku Adamu ne Kaawa ng’abantu abaaliwo ddala? [Muleke abeeko ky’addamu era soma Matayo 19:4-6.] Magazini eno eddamu ebimu ku bibuuzo ebikwata ku lusuku Adeni abantu bye batera okwebuuza.”
Awake! Jjanwali
Mulage ebiri kungulu ku magazini era omubuuze nti, “Wandizzeemu otya ekibuuzo kino? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ebyawandiikibwa bikubiriza abantu okuba ab’emirembe. [Soma Yakobo 3:17.] Oba nga bwe kityo bwe kiri, lwaki eddiini teziyambye bantu kuba bumu? Olowooza eddiini zinaasobola okuleeta emirembe? Magazini eno ewa eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo ebyo.”