Kalenda ya 2011 Eyogera ku Kusinza kw’Amaka
Okusinza kw’Amaka gwe mutwe oguli ku Kalenda y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’omwaka 2011. Kalenda eyogera ku maka agaliwo leero n’ago agaaliwo mu biseera bya Bayibuli. Ate era eraga abafumbo n’abaweereza ba Yakuwa abali obwannamunigina nga basoma ekigambo kya Katonda.
Abantu aboogerwako mu Bayibuli abalagiddwa ku kalenda baasanyukiranga amateeka ga Yakuwa, era nga kino kye kyabayambanga okwaŋŋanga ebizibu eby’enjawulo bye baayolekagananga nabyo. (Zab. 1:2, 3) Nga twekenneenya buli kifaananyi ekiri ku kalenda tujja kujjukizibwa obukulu bw’okuba n’Okusinza kw’Amaka, wadde nga tubeera mu maka omuli abantu abangi oba abatono, nga gali bumu mu nzikiriza oba nedda. Ku kalenda kuliko w’oyinza okuwandiika olunaku lwe mutaddewo olw’Okusinza kw’Amaka. Omaze okuwandiikako olunaku olwo?