Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 22
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 22
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 26 ¶19-23, akas. ku lup. 269
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 2 Ebyomumirembe 1-5
Na. 1: 2 Ebyomumirembe 3:1-13
Na. 2: Yakuwa Yasinziiranga ku Ki Okusonyiwa Ebibi Ebyakolebwanga ng’Obukristaayo Tebunnabaawo? (Bar. 3:24, 25)
Na. 3: Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Babuulira Nnyumba ku Nnyumba? (rs-E lup. 206 ¶1-4)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Ebitabo eby’Okugaba mu Desemba. Kukubaganya birowoozo. Mwogere ku ebyo ebiri mu bitabo ebinaagabibwa, era laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ku ngeri y’okubigabamu.
Ddak. 20: “Waliwo ky’Oyinza Okukola Okuyamba Omu ku Bafumbo Atali Mukkiriza?” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Buuza omubuulizi eyaliko omufumbo atali mukkiriza. Ekibiina kyamuyamba kitya okuyiga amazima?