Akasanduuko k’Ebibuuzo
◼ Biki bye tuyinza okukola okuyamba bapayoniya?
Okwetoloola ensi yonna mu mwaka gw’obuweereza 2009, kumpi ab’oluganda ne bannyinaffe 800,000 be baweereza nga bapayoniya aba bulijjo ne bapayoniya ab’enjawulo. Abaweereza bano ab’ekiseera kyonna beefiiriza ebibala ebibereberye eby’ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe, n’eby’obugagga byabwe okubunyisa amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Nge. 3:9) Nga Yakuwa ateekwa okuba nga musanyufu nnyo olw’okufuba kwabwe! Mu ngeri ki ez’enjawulo mwe tuyinza okulagira endowooza ya Yakuwa ne tubayamba okufuna essanyu n’okunywerera ku buweereza bwabwe?
Awatali kubuusabuusa, bwe twogera ebigambo ebizzaamu amaanyi biyinza okubakubiriza okwongera okuweereza nga bapayoniya. (Nge. 25:11) Tuyinza okukyusakyusa mu nteekateeka yaffe okusobola okukolerako awamu nabo mu buweereza? Bwe tuba tukoleddeko wamu nabo, tuyinza okuleeta ekirowoozo okukozesa ekidduka kyaffe mu kifo ky’okukozesa ekyabwe. Era singa tuba tukozesezza ekidduka kyabwe, oboolyawo tuyinza okubaako ne kye tubawaayo okukendeeza ku nsaasaanya yaabwe. (1 Kol. 13:5; Baf. 2:4) Ate era tulaga nti tuwagira bapayoniya ng’emirundi egimu tubasembeza mu maka gaffe okuliirako awamu nabo ekijjulo.—1 Peet. 4:8, 9.
Ebyawandiikibwa bitukakasa nti Yakuwa ajja kukola ku byetaago by’abo abasooka okunoonya Obwakabaka. (Zab. 37:25; Mat. 6:33) Engeri emu gy’akikolamu kwe kuyitira mu Bakristaayo bannaffe. (1 Yok. 3:16-18) Kya lwatu, bapayoniya tebasuubira balala kubeettikira buvunaanyizibwa bwabwe obw’eby’enfuna. Ate era kiyinza obutabeetaagisa kubuulira balala nga wabaddewo kye beetaaga. Kyokka, tuyinza okuyamba bapayoniya abeesigwa ‘okukola ku bwetaavu bwabwe’ nga tufaayo okwetegereza obanga balina obwetaavu era nga tuba beetegefu okubayamba.—2 Kol. 8:14, 15.
Feyibe, omubuulizi w’enjiri omunyiikivu ow’omu Kibiina kye Kenkereya mu kyasa ekyasooka, bwe yagenda e Rooma, Pawulo yakubiriza ab’oluganda mu Rooma ‘okumusembeza mu Mukama waffe mu ngeri egwanira abatukuvu, era n’okumuyamba mu nsonga zonna z’ayinza okwetaaga bo okumuyamba.’ (Bar. 16:1, 2) Tulina akakisa okwoleka okwagala n’okuwagira abo abali mu kibiina kyaffe abalangirira amawulire amalungi awatali kuddirira nga baweereza nga bapayoniya aba bulijjo oba bapayoniya ab’enjawulo.—Bik. 5:42.