LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/06 lup. 3
  • Bataddewo Ekyokulabirako eky’Obwesigwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bataddewo Ekyokulabirako eky’Obwesigwa
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Laba Ebirala
  • Akasanduuko k’Ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Emikisa Egiva mu Kuweereza nga Payoniya
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Jjukira Abo Abali mu Buweereza obw’Ekiseera Kyonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Okugaziya Obuweereza Bwaffe
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 7/06 lup. 3

Bataddewo Ekyokulabirako eky’Obwesigwa

1 Mu mwaka gwa 1937, waatandikibwawo obuweereza obw’ekiseera kyonna obw’engeri endala​—nga bwe buweereza bwa bapayoniya ab’enjawulo. Abasajja n’abakazi abalina obusobozi n’obumanyirivu mu buweereza obw’Ekikristaayo, beewaayo okuweereza mu kifo kyonna ekibiina gye kyabanga kibasindise. Kati nga wayiseewo emyaka mingi, bapayoniya ab’enjawulo beeyongedde okuteekawo ekyokulabirako eky’obwesigwa fenna kye tusaana okukoppa.​—Beb. 6:12.

2 Baali Basaale: Okuva ku ntandikwa, bapayoniya ab’enjawulo baawoma omutwe mu kukozesa gramufooni mu mulimu gw’okubuulira. Ate era bakozesanga ebyo ebyalinga bikwatiddwa ku ntambi okukubaganya ebirowoozo ku Baibuli nga bazzeeyo eri abo abaagala okumanya ebisingawo. Kino kyakolebwanga mu bibuga ebinene ebibiina gye byali byatandikibwa edda. Oluvannyuma bapayoniya basindikibwa mu bitundu obwetaavu bw’ababuulizi bw’Obwakabaka gye bwali busingako. Baddangayo eri abo bonna abaasiimanga amawulire g’Obwakabaka era baasomesanga abantu Baibuli. Olw’okufuba kwabwe, ebikumi n’ebikumi by’ebibiina byatandikibwawo. Obunyiikivu bwabwe mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi bwayamba nnyo mu kukulaakulana kw’ekibiina ekiriwo leero. (Is. 60:22) Bapayoniya balina ekifo kya maanyi mu kubunyisa amawulire amalungi “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.”​—Bak. 1:23.

3 Kitugwanira Okubakoppa: Bapayoniya ab’enjawulo abamu baweerezza okumala emyaka egisukka mu abiri. Emyaka bwe gigenze giyitawo, okukkiriza kw’abasajja n’abakazi bano abeesigwa kunywezeddwa mu ngeri ez’enjawulo. (1 Peet. 1:6, 7) Beefiiriza okuba n’eby’obugagga basobole okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako. Abamu ku bo bakaddiye, abalala balwadde era boolekagana n’ebizibu ebirala. (2 Kol. 4:16, 17) Wadde kiri kityo, “bakyabala ebibala nga bakaddiye.” (Zab. 92:14) Bafunye emikisa mingi olw’okuba batadde obwesige bwabwe mu Yakuwa.​—Zab. 34:8; Nge. 10:22.

4 Awatali kubuusabuusa bapayoniya ab’enjawulo basaana okusiimibwa. Mu kibiina kyo bwe babaamu, kozesa omukisa ogwo okubuulirako nabo osobole okuganyulwa mu bumanyirivu bwe balina. Bw’onookola nabo, ojja kuddamu amaanyi. Basiime olw’obuweereza bwabwe ng’abalangirizi b’Obwakabaka abeesigwa. Abo bonna abakoppa okukkiriza kwabwe bajja kufuna emikisa gya Yakuwa kubanga ‘abakola eby’amazima abasanyukira.’​—Nge. 12:22.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza