Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 9
WIIKI ETANDIKA AGUSITO 9
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 21 ¶18-21, akas. ku lup. 217
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 1 Bassekabaka 21-22
Na. 1: 1 Bassekabaka 22:1-12
Na. 2: Omwoyo gwa Kyetwala Bwe Guleetera Omuntu Okukoppa Ensi, Aba Yeetadde mu Buyinza bw’Ani? (rs-E lup. 191 ¶2-3)
Na. 3: Ekyokulabirako kya Eriya Kituyigiriza Ki ku Bikwata ku Kusaba? (Yak. 5:18)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Ddala Sayansi Akakasa Nti Ebintu Byajja Bifuukafuuka? Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 121, akatundu 4, okutuuka ku lupapula 126, akatundu 2. Saba abawuliriza boogere ebirungi ebyavaamu nga bakozesezza ekitundu kino okuwa obujulirwa ku ssomero oba awalala wonna.
Ddak. 10: Olina Biruubirirwa Ki eby’Eby’Omwoyo? Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 117, katundu 2, okutuuka ku nkomerero y’essuula. Saba abawuliriza boogere engeri bazadde baabwe oba abantu abalala gye baabayamba okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.
Ddak. 10: “Enteekateeka Eteereddwawo Okuyamba Ababuulizi.” Kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo. Bategeeze ennaku z’omwezi olukuŋŋaana lw’ekitundu we lunaabeererawo bwe muba muzimanyi. Saba abawuliriza boogere engeri gye baaganyulwa mu lukuŋŋaana lw’ekitundu olwakaggwa.