Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjulaayi 1
“Oboolyawo bangi ku ffe tetwekakasa kye tuyinza kugamba mukwano gwaffe alina obulwadde obw’amaanyi oba obutawona. Olowooza amagezi gano gayinza okutuyamba? [Soma Yakobo 1:19, era muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kirimu amagezi ag’omuganyulo agesigamiziddwa ku Baibuli.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.
Awake! Jjulaayi
“Abakazi basaanidde okuba abaweereza mu kkanisa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Laba Baibuli ky’eyogera ku mukazi omu. [Soma Abaruumi 16:1.] Kyokka, olunyiriri olulala lugamba nti abakazi basaanidde okusirika nga bali mu kkanisa. Kati olwo, Baibuli eyogera ki ku nsonga eno? Ekitundu kino kitunnyonnyola.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 28.
The Watchtower Agusito 1
“Abantu bangi batya nti olutalo olw’eby’okulwanyisa eby’amaanyi ga nukiriya oba enkyukakyuka y’embeera y’obudde bijja kuzikiriza ensi. Olowooza ekyo kiribaawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno. [Soma Okubikkulirwa 11:18.] Magazini eno eddamu ebibuuzo bina ebitera okubuuzibwa ebikwata ku nkomerero y’ensi.”
Awake! Agusito
“Oboolyawo, Abajulirwa ba Yakuwa baali boogeddeko naawe. Wali weebuuzizza ensonga lwaki tubuulira nnyumba ku nnyumba, naddala okuva bwe kiri nti abantu abasinga obungi tebaagala kuwuliriza? [Muleke abeeko ky’addamu, era soma Matayo 24:14.] Tusanga abantu bangi abatulinako endowooza enkyamu. Magazini eno ennyonnyola ekyo Abajulirwa ba Yakuwa kye bali.”