Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjuuni 21
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 21
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 1 Bassekabaka 1-2
Na. 1: 1 Bassekabaka 1:1-14
Na. 2: Kiki Ekinaatutuukako mu Biseera eby’Omu Maaso Singa Tukozesa Ebifaananyi mu Kusinza? (rs-E lup. 187 ¶1-4)
Na. 3: Lwaki Okugondera Katonda Kituganyula mu by’Omubiri ne mu by’Omwoyo?
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 15: Ebitabo by’Okugaba mu Jjulaayi. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Mu bufunze yogera ku ebyo ebiri mu bitabo ebinaagabibwa mu Jjulaayi, era lagayo ekyokulabirako kimu oba bibiri ku ngeri gye binaagabibwamu.
Ddak. 15: “Beeranga Mwetegefu Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli.” Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo. Laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okukozesamu tulakiti eyitibwa Okumanya Amazima okutandika okuyigiriza oyo eyakkiriza ekimu ku bitabo byaffe ebyagabibwa mu Jjulaayi.