Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maayi 10
WIIKI ETANDIKA MAAYI 10
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 2 Samwiri 4-8
Na. 1: 2 Samwiri 6:1-13
Na. 2: Kiki Kye Tumanyi ku Lunaku lw’Abaagalana, ku Lunaku lwa Bamaama, n’Emikolo gy’Eggwanga? (rs-E lup. 181 ¶5–lup. 182 ¶5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Okuba n’Omululu Kuba Kusinza Bifaananyi (Bef. 5:5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Baako ky’Okolawo Okuyamba Abo Abali mu Kitundu Kye Mubuuliramu. Kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ku ebyo ebiri mu kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 188, akatundu 4, okutuuka ku nkomerero y’olupapula 189. Mu bufunze, buuza ebibuuzo omuntu eyakulaakulana olw’okuba abalala baamulaga okufaayo.
Ddak. 10: Ekizimbe ky’Obwakabaka Ekiyonjo Kiweesa Yakuwa Ekitiibwa. Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde. Yakuwa Katonda mutukuvu, n’olwekyo abaweereza be basaanidde okutwala obuyonjo nga kintu kikulu nnyo. (Kuv. 30:17-21; 40:30-32) Bwe tukuuma ekifo kyaffe kye tusinzizaamu nga kiyonjo era nga kiri mu mbeera nnungi, kiba kiweesa Yakuwa ekitiibwa. (1 Peet. 2:12) Buuza ow’oluganda akola ku by’okuyonja n’okuddaabiriza ekifo kyammwe kye musinzizaamu ayogere enteekateeka ezikoleddwa. Yogera ku byokulabirako ebyaliwo mu kitundu kyammwe oba ebyafulumira mu bitabo byaffe ebiraga engeri endabika ennungi ey’Ekizimbe ky’Obwakabaka gye yawaamu abantu ab’omu kitundu obujulirwa. Kubiriza bonna okufuba okwenyigira mu nteekateeka ez’okuyonja n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka.
Ddak. 10: “Amawulire Gano Amalungi Galibuulirwa!” Kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.