‘Amawulire Gano Amalungi Galibuulirwa’!
1. Tumanya tutya nti tewali kintu kyonna kisobola kuyimiriza mulimu gwa kubuulira?
1 Tewali kisobola kulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye. (Is. 14:24) Wadde ng’Omulamuzi Gidiyoni n’abasajja be 300 baali balabika nga abatasobola kuwangula ggye ly’Abamidiyani eryalimu abalwanyi 135,000, Yakuwa yamugamba nti: ‘Olirokola Isiraeri mu mukono gwa Midiyani. Si nze nkutumye?’ (Balam. 6:14) Mulimu ki oguwagirwa Yakuwa leero? Yesu yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu.” (Mat. 24:14) Tewali n’omu ajja kulemesa mulimu guno kukolebwa!
2. Lwaki twandisuubidde nti Yakuwa ajja kutuyamba kinnoomu nga tuli mu buweereza?
2 Yakuwa Atuyamba Kinnoomu: Tulina obwesige nti Yakuwa ajja kusobozesa Abajulirwa be ng’ekibiina okutuuka ku buwanguzi, naye twandisuubidde Yakuwa okutuyamba kinnoomu? Omutume Pawulo bwe yali mu bwetaavu, Yakuwa yamuyamba ng’ayitira mu Mwana we Yesu. (2 Tim. 4:17) Mu ngeri y’emu tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwaffe kinnoomu tusobole okutuukiriza ekigendererwa kye.—1 Yok. 5:14.
3. Ezimu ku mbeera Yakuwa mw’atuyambira ze ziruwa?
3 Ebyeraliikiriza mu bulamu bikumalamu amaanyi n’oba nga tosobola kugenda mu buweereza? ‘Awa amaanyi abakooye.’ (Is. 40:29-31) Oyigganyizibwa oba oziyizibwa? “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga.” (Zab. 55:22) Ebiseera ebimu owulira nga teweekakasa bulungi? “Genda, nange ndibeera wamu n’akamwa ko.” (Kuv. 4:11, 12) Olina obulwadde obukulemesa okwenyigira mu bujjuvu mu buweereza? Yakuwa asiima era asobola okuwa omukisa okufuba kwo okuviira ddala ku mutima ka kubeere kutono kutya.—1 Kol. 3:6, 9.
4. Okuba n’obwesige mu Yakuwa kinaatuleetera kukola ki?
4 Omukono gwa Yakuwa “gugoloddwa, era ani aliguzzaayo?” (Is. 14:27) Nga tulina obwesige nti Yakuwa ajja kuwa obuweereza bwaffe emikisa, ka tweyongere awatali kuddirira okubuulira ‘n’obuvumu kubanga twafuna obuyinza okuva eri Yakuwa.’—Bik. 14:3.