Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Agusito 31, 2009. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 20, ng’akwesigamya ku ebyo bye twayiga okuva nga Jjulaayi 6 okutuuka mu wiiki etandika nga Agusito 31, 2009.
1. Lwaki omuntu yenna ‘eyakolimiranga’ bazadde be yasalirwanga gwa kufa? (Leev. 20:9) [w04-LU 6/1 lup. 22 kat. 6]
2. Bwe kiba nti abasajja bonna Abaisiraeri baali balina okubaawo ku Mbaga ey’Emigaati Egitazimbulukusiddwa, kati olwo baani abaakungulanga ebibala ebibereberye eby’ekiweebwayo kya sayiri? (Leev. 23:5, 11) [w07 7/15 lup. 26 kat. 3]
3. Kiki ekikiikirirwa omwaka gwa Jjubiri? (Leev. 25:10, 11) [w04 7/15 lup. 26-27]
4. “Obubonero” obwogerwako mu kitabo ky’Okubala 2:2 bwalina akakwate konna n’okusinza kw’Abaisiraeri? [w02 9/15 lup. 21 kat. 4]
5. Mwoyo ki ababuulizi ab’ekiseera kyonna gwe balaga leero ogufaananako n’ogwo ogwalagibwa Abanaziri ab’omu Isiraeri ey’edda? (Kubal. 6:3, 5, 6) [w04-LU 8/1 lup. 29-30]
6. Musingi ki oguli mu tteeka erikwata ku kuwummula kw’Abaleevi ogukwata ku bantu ba Yakuwa leero? (Kubal. 8:25, 26) [w04-LU 8/1 lup. 30 kat. 1]
7 . Kiki ekyaleetera Abaisiraeri okutandika “okwegomba,” era kino kiyigiriza ki Abakristaayo leero? (Kubal. 11:4) [w01-LU 7/1 lup. 10-11; w95 3/1 lup. 15 kat. 10]
8. Lwaki Miryamu yekka ye yakubwa ebigenge, era kino tukiyigirako ki? (Kubal. 12:9-11) [w04-LU 8/1 lup. 31 kat. 1; it-2 lup. 415 kat. 1]
9. Kiki Yoswa ne Kalebu kye baali bategeeza bwe baagamba nti Abakanani “kya kulya”? (Kubal. 14:9) [w06-LU 10/1 lup. 16 kat. 5; it-1 lup. 363-364]
10. Okubala 21:5 lutuwa kulabula ki? [w99 8/15 lup. 26-27]