Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 31
WIIKI ETANDIKA AGUSITO 3
Oluyimba 54
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 9 ¶13-21, akasanduuko ku lup. 104
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Okubala 17-21
Okwejjukanya
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 71
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Engeri y’Okunnyonnyola Obulungi Ensonga Okusobola Okutuuka ku Mutima. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 237, akatundu 3, okutuuka ku lupapula 238, akatundu 5. Lagayo ekyokulabirako kimu oba bbiri ebikwata ku nsonga eziragiddwa mu kitundu ekyo.
Ddak. 20: “Enkuŋŋaana z’Obuweereza bw’Ennimiro.” Kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
Oluyimba 64