Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 7
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 7
Oluyimba 31
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 9 ¶22-26, akasanduuko ku lup. 109, n’ebyongerezeddwako ku lup. 218-219
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Okubala 22-25
Na. 1: Okubala 22:20-35
Na. 2: Engeri Yesu gye Yakuumibwamu (lr sul. 32)
Na. 3: Makulu ki Agali mu 1 Peetero 4:6? (rs lup. 163 ¶5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 23
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Okuddamu Ebibuuzo Ebikwata ku Nnaku ez’Oluvannyuma. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 241, katundu 5, okutuuka ku lupapula 243, katundu 1. Mu bufunze lagayo ekyokulabirako kimu.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina. Oyinza okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ku kitundu “Omukolo gw’Okuziika—Gwa Kitiibwa, Mutonotono, era Gusanyusa Katonda” okuva mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 15, 2009, lup. 29-32.
Ddak. 10: Enkola Ezikakasiddwa ez’Okunoonyaamu Abagwanira. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 95, akatundu 3, okutuuka ku lupapula 96, katundu 4. Saba abawuliriza boogere oba lagayo ekyokulabirako kimu oba bibiri ebikwata ku birungi bye baafuna bwe baakozesa engeri endala ez’okuwaamu obujulirwa.
Oluyimba 26